Ekiyongobero, kibuutikidde abatuuze mu zzooni y’e Nabisaalu mu Divizoni y’e Makindye West, omukyala bw’akutukidde mu kaboozi.

Okusinzira ku batuuze, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo omusajja- mutuuze munaabwe Nkata Jamil yaleese omukyala ali mu gy’obukulu 30 nga buligyo bw’atela okola.

Wabula kigambibwa, omukyala yabadde atamidde, era wakati mu kusinda omukwano, yakendeza mpola amaloboozi, ge yabadde akozesa, okuzaamu kabiite amaanyi wakati mu kikolwa.

Nkata oluvanyuma lw’okwesa empiki ng’amazeemu akagoba, yakitegedde nti omukyala yabadde afudde era amangu ddala yadduse olw’okutya abatuuze okumugajambula.

Omulambo gw’omukyala gusangiddwa ku buliri nga yenna ali bute nga bwe yazaalibwa, mu kifo mwe yasinzidde ogabira omusajja ebyalo.

Eddoboozi ly’abatuuze

Wadde omulambo gw’omukyala gutwaliddwa aba famire, Laandiloodi asigadde alemeddeko okunoonya Nkata okuggya ebintu muzigo gwe ssaako n’osasula ssente zonna zabadde amubanja.

Ate Ssemaka Alex Tayebwa ali mu gy’obukulu 45, asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 10 ku misango gy’okudda ku mwana wa mukyala we, namusobyako.

Tayebwa asimbiddwa mu kkooti enkulu e Ntebe mu maaso g’omulamuzi  Wilson Kwesiga era akkiriza ku misango gyona.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu Mariam Njuki mu March, 2019, Tayebwa nga mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso, yasobya ku mwana emirundi 2, eyali mu gy’obukulu 16, ekintu ekimenya amateeka.

Omulundi ogwasooka, omwana yamusanga mu nimiro bwe yali agenze okukyaba enku namusobyako ate Ogwokubiri, yasobyako ng’ali waka, nnyina bwe yali atambuddemu.

Oluvanyuma lw’okusobezebwako, omwana yafuna olubuto era nnyina, yaddukira Poliisi, ekyavaako bba Tayebwa okumusiba.

Mu kkooti, Tayebwa akkiriza emisango gyonna egy’okudda ku mwana mujjananyina namusobyako, kwe kusaba omulamuzi ekibonerezo ekisamusaamu.

Omulamuzi mu kuwa ensala ye, Tayebwa amusalidde emyaka 10, kyokka amusaliddeko omwaka gumu (1), emyezi munaana (8) n’ennaku 14 zakulungudde ku limanda.