Bannansi mu ggwanga erya Kenya balindiridde okusalawo kw’omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta myaka 59 ku nsonga ya ssaabalamuzi omuggya, agenda okudda mu bigere bya David Maraga.

Maraga myaka 70 abadde ssaabalamuzi okuva mu October 2016 okutuusa lwe yawumudde mu January 2021 era abadde ssaabalamuzi we Kenya ow’e 14.

Wabula akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abalamuzi aka Judicial Service Commission (JSC), kaalonze omukyala, omulamuzi Martha Koome Karambu nga ssaabalamuzi omuggya ku bantu 10 abayise mu kasengejja.

Erinnya, lyasindikiddwa eri omukulembeze w’eggwanga Kenyatta era yekka yasigadde okumukakasa.

Singa Omulamuzi Karambu alondebwa nga ssaabalamuzi omuggya, ye mukyala aba asoose okulondebwa mu byafaayo nga ssaabalamuzi we Kenya era aba ssaabalamuzi we 15.

Abalamuzi abalala, abaavuganyiza ku kya ssaabalamuzi mwe muli Juma Chitembwe, Prof Patricia Mbote, Justice Marete Njagi, Philip Murgor, Justice Nduma Nderi, Fred Ngatia, Justice William Ouko, Dr Wekesa Moni ne Alice Yano.

Wabula Prof Olive Mugenda eyabadde kakiiko k’abalamuzi abaalonze, agamba nti bonna 10 abalamuzi balungi mu kitongole ekiramuzi n’okuwereza Bannakenya kyokka omulimu gwabwe, gwabadde gwa kunoonya omulamuzi asukkulumye ku banaabwe.

Mungeri y’emu agambye nti buli mulamuzi yafunye Makisi kyokka omukyala Karambu yakoze bulungi ddala.

Omulamuzi Karambu agamba nti singa alondebwa nga ssaabalamuzi we Kenya, ensonga y’okulwanyisa omujjuzo mu makkomera, y’emu kwezo zagenda okusookerako, okulongoosa embeera z’abalamuzi omuli omusaala, okwongera ku bungi bwa balamuzi ssaako n’okwongera okutumbula obwenkanya mu kitongole ekiramuzi.

Omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta agobye abakulu bonna (Badiyirekita) ku lukiiko oluvunaanyizibwa ku ddagala n’okulitwala mu malwaliro olwa Kenya Medical Supplies Authority’s (Kemsa).

Kenyatta agamba nti olukiiko, lubadde lusukkiridde okwenyigira mu kuvuya mu kutambuza emirimu.

Abagobeddwa, benyigidde mu kusindika mu malwaliro eddagala ddoozi 24,000 erya Mukenenya ate nga lyawerebwa nga liyina obulabe ku bulamu bw’abantu okuva 2019.

Mungeri y’emu kigambibwa baludde nga benyigira mu kubulankanya ensimbi z’eggwanga n’okusingira ddala ez’okulwanyisa Covid-19.

Kenyatta agamba nti abakulu bonna bagobeddwa olw’okutebenkeza entambula y’emirimu.

Okumanya ebisingawo – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440