Ssemaka akikoze musajja munne lwa kunyonyogera vuvuzera ya mukyala we!
Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okutta musajja munne gw’aludde ng’ateebereza okusigula mukyala we ne badda mu kusinda omukwano.
Ssemaka Abaasa Owen ali mu gy’obukulu 30 yakwattiddwa ku misango gy’okutta Mubangizi Alex Kiiza, nga naye ali mu gy’obukulu 30, abadde omutuuze ku kyalo Kyogo mu ggoombolola y’e Bukimbiri mu disitulikiti y’e Kisoro.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Abaasa akolera mu Kampala era sabiiti ewedde ku Lwokusatu nga 5 omwezi guno Ogwokutaano, yabadde azzeeyo mu kyalo okulaba ku mukyala we.
Abaasa, yabadde ali mu nnyumba ne mukyala we, omusajja Mubangizi, yakubidde omukyala essimu, ‘nti kabiite ntuuse’.
Amangu ddala ssemaka Abaasa, yafulumye era yakubye Mubangizi omuli n’okumutema okutuusa lwe yafudde.
Oluvanyuma lw’okutta Mubangizi, Abaasa yaddukidde ku Poliisi y’e Bukimbiri era Poliisi emuguddeko emisango gy’okutta omuntu.
Mu kiseera kino Abaasa akuumibwa ku Poliisi y’e Bukimbiri nga Poliisi ezudde ekyambe, kyasobodde okweyambisa okutta omuntu.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze, omusuubuzi omukyala abadde yegulidde erinnya, bw’asangiddwa ng’atemeddwako omutwe.
Omusuubuzi Clementia Kituyi abadde omutuuze ku kyalo Buloli mu Tawuni Kanso y’e Bududa mu disitulikiti y’e Bududa.
Omulambo gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga kiteeberezebwa yabadde agenda kunaaba ng’okumpi n’omulambo, amazzi gasangiddwa mu baafu ssaako ne sabuuni era gulabiddwa abasuubuzi abakedde okusuubula ebintu omuli ebibala.
Ssentebe w’ekyalo Moses Wekoye, asabye Poliisi okunoonyereza okuzuula abatemu, abenyigidde mu kutta omutuuze we.
Wabula adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Bududa Hilary Nuwahereza, agumizza abatuuze era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekifuufu ssaako n’abatemu era omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Bududa.
Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/804504280201900