Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga awanjagidde Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, okulowooza ku bantu abaakwatibwa, mu biseera eby’okunoonya akalulu okusonyiyibwa oba okutwalibwa mu kkooti mu bwangu.

Abamu ku baakwatibwa, mwe muli bannakibiina ki NUP, abali mu kwewozaako mu kkooti y’amaggye e Makindye ku misango gy’okusangibwa n’amasasi.

Banno okuli, Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 34, bali ku limanda mu kkomera e Kitalya ssaako ne Kigo.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa baasangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka era baakwatibwa nga 30, December, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omu kw’abo abaali besimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga, bwe yali agenze okunoonya akalulu.

Kati no, Mukuumaddamula Peter Mayiga awadde Gavumenti amagezi, abantu abaakwatibwa mu biseera by’akalulu, okusonyiyibwa, okuyimbulwa oba okutwalibwa mu kkooti, okusinga okubakuumira mu makkomera.

Eddoboozi lya Mayiga

Katikkiro Mayiga asinzidde mu lukiiko lwa Buganda olwa 28 olutuula 2 wali ku Bulange e Mmengo era agamba nti abakwate bonna bavubuka, balina abakyala, abaana ssaako n’okulabirira bazadde baabwe nga betaaga obwenkanya.

Agamba nti okuvuganya mu byobufuzi tegulina kuba musango era ebitongole ebikuuma ddembe birina okulaga bannayuganda ebizibiti by’amasasi ssaako n’okutegeeza eggwanga olukwe lwe baali bapanze okutabangula eggwanga.

Katikkiro Mayiga mungeri y’emu asabye Pulezidenti Museveni okuddamu okusosowaza ensonga ezamuleeta mu buyinza.

Agamba nti obuli bw’enguzi busukkiridde mu ggwanga, abantu okuttibwa, okutyoboola eddembe ly’obuntu, obwavu, ekivuddeko abantu okwekyawa.

Mungeri y’emu asabye Museveni okulwanyisa obwavu mu kisanja ekipya, okulongoosa embeera z’abasawo, okulwanyisa ekibba ttaka, okulwanyisa obutemu ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe okufulumya alipoota ku bantu abattiddwa ssaako n’ebikolobero byonna mu ggwanga.

Yoweri Kaguta Museveni agenda kulayizibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu mu kisaawe e Kololo era abakulembeze b’ensi abasukka 40 n’okusingira ddala mu Africa, bayitiddwa.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/548619926525943