Omuyimbi Juliana Kanyomozi avuddemu omwasi ku muyimbi munne Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Bobi Wine mu kiseera kino ye Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) era mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021, yakutte kyakubiri bwe yabadde yesimbyewo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni yaddamu okuwangula.

Kati no, Juliana asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okusiima Bobi Wine okukola ebintu eby’enjawulo okusikiriza bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala abavubuka.

Bobi Wine

Juliana agamba nti Bobi Wine avudde wala nnyo ate akyayimiridde era amwenyumirizaamu nnyo kuba akoze ebintu eby’enjawulo.

Mungeri y’emu asiimye kabiite wa Bobi Wine, Barbie Itungo Kyagulanyi okuba olwazi mu bulamu bwa bba “You have come a long way @bobiwine , and yet you are still standing. You have inspired an entire generation. To say I’m proud of you is an understatement, I take my hat off for you! Big thank you to @barbiekyagulanyi for always being your rock. Continue to walk in your calling“.

Mu 2011, Bobi Wine yayimba ne Juliana oluyimba ‘Mama Mbiire’ ekintu ekyayongera enkolagana wakati waabwe.

Omuyimbi Hajara Diana Namukwaya amanyikiddwa nga Spice Diana ayogedde ku nkolagana ye n’omuyimbi munnansi wa Tanzania Diamond Platnumz.
Spice yali mu Tanzania omwezi oguwedde ogwa April era ebigambo byali biyitingana nti ali mu laavu ne Platnumz.
Wabula Spice agamba nti abagamba nti tweganza mu by’omukwano baswadde kubanga ye mukyala wanjawulo nnyo, alina okwewa ekitiibwa.
Mungeri y’emu agamba nti, yasisinkana Platnumz mu makaage okuteesa ku bizinensi ng’ali ne mikwano gye, “nze namala ne Diamond essaawa ntono nnyo mu butuufu nga ssatu kuba yalina emirimu emirala mingi nnyo”.

Mungeri y’emu agamba nti wadde yafuna omukisa okusisinkana Diamond, okukola kolabo naye tewaliwo budde kubitesaako.

Mu Uganda, Spice y’omu ku bayimbi abakyala abegulidde erinnya era abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.
Ezimu ku nnyimba ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Kwata Wano, Anti Kale, Jangu Ondabe n’endala.

Ebirala ebigenda mu maaso mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/307826460751740