Omuwala Lydia Namuwaya myaka 23 omutuuze ku kyalo Misoli mu ggoombolola y’e Wairasa mu disitulikiti y’e Mayuge aliira ku nsiko mu kiseera kino oluvanyuma lw’okwagala okutta omwana we.

Omwana abadde wa lunnaku lumu era nnyina Namuwaya yamufumise ekiso ku kibegabega kya ddyo.

Omuwala Namuwaya omwana yamuzaalidde wa Mulerwa ku Lwokusatu nga 12, May, 2021 ekiro era enkera ku Lwokuna, kwe kusuula omwana mu kabuyonjo oluvanyuma lw’okumufumita

Oluvanyuma lwa Namuwaya okudduka, omukozi w’awaka yategeezezza abatuuze nti omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro nga mulwadde.

Ku Lwokuna ekiro, omu ku batuuze Fahad Byakika bwe yabadde agenze mu kabuyonjo okweyamba, kwe kulira omwana ng’akaaba era amangu ddala kwe kutemye ku batuuze ssaako ne Poliisi.

Poliisi yasobodde okwanguwa okumenya kabuyonjo era omwana yagiddwawo natwalibwa ku ddwaaliro lya Wairasa health center II oluvanyuma gye yagiddwa okumwongerayo mu ddwaaliro ekkulu e Jinja.

Maama wa Namuwaya, Jessica Matama agamba nti yategeezeddwa ku kya muwala we okwagala okutta omwana we mu kiseera ng’omwana atwaliddwa mu ddwaaliro.

Ate omu ku basawo agaanye okwatuukiriza amannya lye agambye nti omwana afunye obujanjabi era tali mu mbeera mbi.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East agambye nti Poliisi esindise abasirikale okunoonya Namuwaya ebitebye.

Ate Minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi azzemu okulondebwa nga omumyuka ow’omukulembeze ow’ekibiina ekidukannya omuzannyo gw’omupiira wano mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga ayisemu nga tavuganyiziddwa.

Nakiwala agenda kubeera omumyuka ow’okusatu avunanyizibwa ku liigi y’eggwanga ey’okuntiko era kigambibwa ne Pulezidenti Moses Magogo ali mu ntebe, tewali ayinza kumulemesa kuddamu kuwangula.

Abamu kw’abo abegwanyiza obwa Pulezidenti bwa FUFA kuliko Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana, nnannyini Proline Mujib Kasule n’abalala.

Mujib Kasule ne Magogo bombi baaliko abamyuka ba Lawrence Mulindwa.

Mujib Kasule yategeezezza nti enzirukanya y’omupiira embi y’emuwalirizza okwesimbawo kuba buli akwata entebe atunuulira Cranes yokka n’ekigendererwa ky’okufuna ensimbi ng’eno omupiira gwa wansi gufa ate Ssewanyana agamba nti Magogo alemereddwa era tagwanidde kuddamu kwesimbawo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/188358706474568