Gravity omutujju alaze nti muyimbi wanjawulo era y’omu ku basajja abalina omutima okutumbula talenti z’abalala.
Wosomera bino, nga Gravity asobodde okufulumya Kolabo ne Fille Mutoni olutumiddwa Dirty nga luyimba lwa mukwano.
Fille abadde ayongedde okubula mu kisaawe ky’okuyimba wadde muyimbi mulungi era abantu babadde batandiise okumwerabira.
Kigambibwa Fille abadde yafuna obuzibu bw’okunywa ebiragalaragala era abadde akola kyonna ekisoboka okudda mu mbeera kuba mukyala alabika bulungi, mukyala muzadde ate y’omu ku bayimbi abakyala abayimba obulungi.
Wabula mu luyimba Fille eraga nti asazeewo okuddamu okwewa Gravity kuba amwewadde nnyo kyokka bambi asaba okwewala okuddamu okumukola ebibi oba Dirty.
Gravity agamba nti abayimbi balina okukola ebintu ebyenjawulo okutumbula talenti yaabwe n’okuyambagana ku buli nsonga yonna era y’emu ku nsonga lwaki yakubye oluyimba ne Fille.
Fille yali bba wa munnamawulire MC Kats ate yali manejja we wabula oluvanyuma lw’okwawukana ate Kats nagaamba nti ye mulwadde wa siriimu mu lwatu, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki Fille yeyongera okunywa ebiragalaragala olwa situleesi.
Ate mu byobufuzi, Bannakibiina ki Democratic Party (DP) bawagidde ekya bayizi abasoma obusawo okuteeka wansi emirimu gyabwe, okutuusa nga Gavumenti ekoze ku nsonga zaabwe.
Abayizi bano abasukka mu 1,000 bayambako ku mirimu gy’amalwaliro 42 era olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 17, May, 2021, balangiridde akeddiimo kaabwe olwa Gavumenti okulemwa okuboongeza ku ssente z’akasiimo wakiri obukadde 3 okuva ku mitwalo 75 zebafuna buli mwezi.
Akulira ekibiina ekibagatta ki Federation of Uganda Medical Interns, Lillian Nabwire, agamba nti bakooye embeera embi era y’emu ku nsonga lwaki abamu ku banaabwe bakola ensobi ku mirimu.
Ate Dr. Nicholas Mukiibi agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, akyagaanye okuvaayo ku nsonga z’abasawo okuboongeza ku ssente z’omusaala.
Dr. Mukiibi agamba nti tebalina suubi lyonna kuddayo ku mirimu okutuusa nga Gavumenti ekoze ku nsonga zaabwe.
Wabula ssenkagale w’ekibiina ki DP Nobert Mao agamba nti abayizi batuufu okuteeka wansi ebikola, nga bakooye Gavumenti okubasubiza eby’empewo.
Mao agamba nti buli mukozi wa Gavumenti yenna alina eddembe lye okuteeka wansi ebikola kuba kiyambako okulaga obutali bumativu.
Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/181014497258222