Abawala eb’emikwano bakubaganye enguumi, okwesika enviiri n’okwesika amataayi nga kivudde ku musajja abadde abakyangakyanga, nga buli omu, abadde alowooza wa nkizo ku munne.

Katemba ono abadde Busega mu Kampala, abawala ab’emikwano bombi abali mu gy’obukulu 24 -27 we balwanaganye nga buli omu, alumiriza munne okumwagalira omusajja.

Omu ku bawala ategerekeseeko erya Deborah, agamba nti bba ategerekeseeko erya James, babadde bombi emyaka egisukka 2 kyokka ennaku zino, abadde ayongedde okunafuwa mu nsonga z’omu kisenge.

Deborah agamba nti mukwano gwe Sandra, abadde yamusigulira omusajja James nga buli kawungeezi agenda okudda awaka, nga mukoowu nnyo nga ne by’okusinda omukwano sibyaliko, olwa mukwano gwe gw’abadde yesiga okudda ku bba, namugabula ebyalo.

Ate omusiguze Sandra agamba nti bba yamutegezaako nti Deborah takyalimu jjuyisi mu nsonga z’omu kisenge, wadde yali yakyaba enku, zeyongedde okukendera nga n’amannya ge atekateeka gakyusa, okuva ku Namazzi okudda ku Nabukalu.

Related Stories
ENSI ENO! Kyaddaki abasawo boogedde amazima ku bulamu bwa Christian Eriksen, abazannyi ba Denmark bibasobedde

Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n'eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Read more

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/05/Nankya-one-Final.mp3
Deborah

Omusiguze Sandra asigadde yewunyiza, mukwano gwe Deborah okudda mu kuyombera omusajja ku mulembe guno.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya South Africa etandise okwebuuza ku bantu okuleeta enkyukakyuka mu sseemateeka w’eggwanga lyabwe.

Ezimu ku kyukakyuka zebagala okuleeta kwe kuwa omukisa abakyala, wadde bafumbiddwa era nga bakubiddwa embaga, okufuna abasajja abalala abayinza okuddamu okubawasa.

Kigambibwa etteeka, ligenda kuwa abakyala omukisa okuba n’abasajja abasukka mw’omu nga bw’ekiri ku basajja okufuna abakyala abasukka mw’omu.

Wabula bangi ku bannansi mu ggwanga eryo, bakisimbidde ekkuli era bagamba nti bo, tebagenda kukiwagira nga waliwo n’abakyala abakigobye.

Mungeri y’emu ne Reverend Kenneth Meshoe akulira ekibiina kya African Christian Democratic Party alabudde Gavumenti okwebuuza ennyo ku bantu ku nkyukakyuka zebalowooza okuleeta wabula ye ng’omuntu takiwagidde.

Agamba nti teri musajja yenna ayinza kukkiriza kugabana mukyala we.

Singa South Africa ekiteeka mu nkola ne kiyisibwa, mu Africa yonna ligenda kufuuka eggwanga erisoose okukiteeka mu nkola.