Okutya kweyongedde eri abakulembeze ssaako n’abatuuze mu ggoombolola y’e Buseruka mu disitulikiti y’e Hoima nga kivudde ku baana abato, abetunda okweyongera.

Abawala wakati w’emyaka 14 – 17, bangi bawanduse massomero ne badda mu kusinda omukwano ogw’ensimbi.

Abakulembeze bagamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, abayizi abasukka mu 600 bawanduse massomero ekivudde abetunda okweyongera

Mu kiseera kino, bangi ku bo, basangibwa ku nguudo n’okusingira ddala olugenda ku nnyanja muttanzige emanyikiddwa nga (Lake Albert) nga bali mu kwerenga.

Okwetunda bali wakati wa shs 3,000 okudda waggulu ate okunoonyereza kulaga nti bangi, batya okulagira abasajja okwambala obupiira bu galimpitawa olw’emyaka emito, ekigenda okutambuza obulwadde.

Omu ku baana abetunda agaanye okwatuukiriza amannya ge agambye nti, “ku shs 3,000 omusajja agikuba nga tamala era abamu twejjusa okuva mu massomera”.

Wabula Ali Tinkamanyire, ssentebe wa LC ey’okusatu (3) mu ggoombolola y’e Buseruka, agamba nti mu kiseera kino, balina okuteeka amateeka amakakali ku bbaala ssaako Loogi, ezegumbulidde okuwa emirimu abawala abato ssaako n’okukkiriza abasajja abakulu okutwala abawala abato mu loogi.

Eddoboozi lya Tinkamanyire

Ate Kansala wa LC 5 Geoffrey Kumakech awanjagidde Gavumenti okuvaayo okuyamba abaana abali mu kwetunda omuli okubasomesa akabi akali mu kutunda omukwano ssaako n’okuteekawo ekifo okubudabudibwa.

Kansala Kumakech agamba nti singa tekikolebwa, bangi ku baana mu kitundu kyabwe, boolekedde okuwanduka massomero okudda mu kwetunda, okunoonya ensimbi ez’amaangu olw’abamu ku bazadde okulaga nti balemeddwa.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine, Julius Hakiza agamba nti kimenya amateeka abakozesa okweyambisa abaana abato era ekikwekweeto ku bbaala ne Loogi okuzuula abantu abato, kigenda kutandiika essaawa yonna.

Bannakibiina ki Democratic Party (DP) basiimye emirimu egikoleddwa, omubaka omukyala we Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga nga sipiika wa Palamenti.

Olunnaku olw’eggulo, Omubaka we Omoro, Jacob Aulanyah yawangudde obwa sipiika mu Palamenti y’e 11 era Kadaga yakutte Kyakubiri.

Wabula Pulezidenti wa DP Nobert Mao, agamba nti, Kadaga wadde yawangudde, akoze bulungi okutunda Uganda mu nsi z’ebweru ng’ali mu ntebe y’obwa sipiika.

Mungeri y’emu asabye Aulanyah, okuggya abasirikale ku Palamenti, kiwe omukisa abantu okulambula ku babaka baabwe n’okubawa ensonga zaabwe.

Kadaga abadde sipiika ebisanja 2 ate ku ky’okumyuka sipiika era yamalako ebisanja 2.

Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/231982791599229