Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde Palamenti empya ku mulundi guno, balina okwenyigira mu kuyimusa embeera z’abantu nga bateekawo ebyo, ebiyinza okubakulakulanya.
Pulezidenti Museveni agamba nti zi Gavumenti ze ezivuddeko zikoza kyamaanyi mu kuloongosa enguudo, okutambuza amasanyalaze era Palamenti y’e 11, eteekeddwa okusoosowaza okuyimusa embeera z’abantu ssaako ne Gavumenti ye omuli okuyambako n’okusingira ddala abavubuka okufuna Kapito okwetandikirawo emirimu.
Museveni asuubira obukadde obusukka mu 2 buli mwaka, okukyusa embeera zaabwe.
Okubyogera, yasinzidde ku kisaawe e Kololo, oluvanyuma lwa Palamenti okulonda omubaka we Omoro Jacob Aulanyah ku bwa sipiika mu Palamenti y’e 11 n’omubaka omukyala ow’e Bukedea Anita Annet Among ku ky’okumyuka sipiika.
Pulezidenti Museveni mu ngeri y’emu alangiridde nti ku mulundi gunno essira agenda kuliteeka nnyo mu kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga lino.
Agamba nti yatandikiddewo emirimu gye nga y’emu ku nsonga lwaki yayimiriza abamu ku bakozi mu kitongole ky’ennyonyi ekya Uganda Airlines abaludde nga benyigidde mu kulya enguzi omuli okusembeza aba famire.
Museveni agamba nti waliwo abakozi mu Uganda Airlines abaludde nga balinyisa ebbeeyi ku bintu ebigulibwa, okusobola okubba ssente z’eggwanga.
Ate ku nsonga y’omubaka omukyala ow’e Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga okuwangulwa ku bwa sipiika bwa Palamenti y’e 11, Museveni abadde omusanyufu, ayozayozeza, bannakibiina ki NRM okuwuliriza ekibiina n’okuteeka mu nkola ebisaliddwawo ekibiina.
Museveni agamba nti yasobodde okwenyigiramu, okutegeeza abannakibiina, abalabise nti bayinza okwewaggula okuwagira Kadaga, okubategeeza n’okubajjukiza nti ekibiina ne bannakibiina balina okuwagira Aulanyah, eyaleteddwa ekibiina.
Agamba yasobodde okubakubira amassimu omuli ekiro n’emisana, okubajjukiza okulonda Aulanyah omuntu waabwe.
Mu kulonda sipiika, Oulanyah afunye obululu 310, Kadaga yakutte kyakubiri n’obululu 197 ate munna FDC era omubaka we Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda yekwebedde mu kyokusatu ng’afunye obululu 15.
Ate ku ky’omyuka sipiika, omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko yafunye obululu 24, Yusuf Nsibambi owa Forum for Democratic Change (FDC) 35 ate Among 415.
Okulonda kwa sipiika kwakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo ate eky’okumyuka sipiika kwakubiriziddwa Aulanyah oluvanyuma lw’okulondebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1439551016388920