Kyaddaki kkooti y’amaggye e Makindye eyimbuddeko abasibe 17, ate 18 baziddwayo ku Limanda okutuusa nga 8 omwezi ogujja Ogwomukaaga.

Banno, bannakibiina ki NUP bakwatibwa ku misango gy’okusangibwa n’amasasi mu ngeri emenya amateeka era bonna basimbiddwa mu kkooti, ebadde ekubirizibwa Munnamaggye Lt. General Andrew Gutti.

Abayimbuddwa 17, kivudde ku bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, okuteeza nti balwadde nga betaaga obujanjabi era oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Captain Ambroze Guma lukkiriza okusaba kwabwe.

Ssentebe wa kkooti,  Lt. General Gutti mu kuyimbula 17, abalagidde okudda mu kkooti emirundi 2 buli mwezi, basabiddwa obukadde 20 buli omu ezitali za buliwo ate ababeyimiridde abakulembeze mu kibiina ki NUP okuli amyuka omuwandiisi w’ekibiina Aisha Kabanda, akulira abakyala Flavia Kalule, amyuka Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda Mathias Mpuuga, Ssaabakunzi w’ekibiina Fred Nyanzi Ssentamu, omuwandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya ssaako n’akulira okutendeka mu kibiina Alex Waiswa Mufumbiro, basabiddwa obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.

Gutti, abasuubiza okuddamu okukwattibwa singa bagezzako, okugyemera ebiragiro buli kyawereddwa.

Gutti

Ate 18 abaziddwa ku Limanda mwe muli Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li, Kanyama Edward Ssebuufu amanyikiddwa Eddie Mutwe, Hassan Ssemakula, Kenny Kyalimpa, Ibrahim Tamale, Robert Kivumbi, Brian Ssemanda ssaako n’abalala.

Kkooti egamba nti okusaba kwabwe tekunnaba kwekenenyezebwa, kwe kubazza ku Limanda okutuusa nga 8, omwezi ogujja Ogwomukaaga.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa baasangibwa n’amasasi 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka era baakwatibwa nga 30, December, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omu kw’abo abaali besimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga, bwe yali agenze okunoonya akalulu, mu kitundu ekyo.

Abayimbuddwa kuliko Robinson Ntambi Mudde, Stanley Kafuko (Kysta), Kivumbi Achileo , Samson Ssekiranda (Giant), Robert Katumba, Kyabagu Geserwa (Pympah), Faisal Kigongo (Ras Fazo) , Musa Mulimira, Sam Mutumba (Papa Sam), Hussein Mukasa, John Bosco Sunday, Fahad Tamale, Bashir Murusha ne William Nyanzi (Mbogo).

Abalala kuliko Adam Matovu, Charles Mpanga, Muhammed Nsubuga ne Sharif Najja (Don Sharif).