Abayimbi basatu (3) mu Africa balondeddwa okuvuganya mu ‘Award’ za BET, ezitegekebwa mu ggwanga erya America.

Bano kuliko Diamond Platinumz munansi w’eggwanga erya Tanzania, Wizkid ne Burna Boy okuva e Nigeria.

Abalala bagiddwa mu ggwanga erya Bungereza, Bufalansa ssaako n’ensi endala.

BET zakubaayo nga 27 omwezi ogujja Ogwomukaaga nga ku mulundi, abantu bakkukirizibwa okuyingira newankubadde omwaka oguwedde ogwa 2020, zaali ku mitimbagano wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Ku mulundi guno, Uganda tefunye muyimbi yenna okuvuganya mu mpaka ezo ng’omuyimbi Eddy Kenzo, ye muyimbi yekka eyakawangula BET mu Uganda mu 2015.

Megan Thee Stallion ne DaBaby bannansi ba America balondeddwa okuvuganya emirundi musanvu (7) ate Cardi B ne Drake emirundi etaano (5).