Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) balonze amyuka Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda era omubaka we Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga, okulembera oludda oluvuganya mu Palamenti y’e 11.

Mungeri y’emu balonze omubaka we Manjiya,  John Baptist Nambeshe nga Nampala w’oludda oluvuganya.

Okulondebwa kwa Mpuuga kulangiriddwa ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya.

Mpuuga yagenda okudda mu bigere bya Betty Aol Ochan munnakibiina ki FDC.

Abalala abalondeddwa, omubaka we Busiro South Medard Ssegona alondeddwa nga ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akanoonyereza ku nsaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka Public Accounts Committee (PAC), Omubaka we Nakawa West era omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi awereddwa ekya ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka Cosase era agenda kumyukibwa omubaka omukyala ow’e Amuru Luck Akello.

Omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke alondeddwa nga ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku bisuubiziddwa Gavumenti ssaako n’abalala abalondeddwa.