Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asuubiza okunoonya abatemu abenyigidde mu kutta abantu (2) ssaako n’okwagala okutta Gen Katumba Wamala enkya ya leero ku ssaawa nga 2:30 ez’okumakya.

Museveni agamba nti abatemu, bayise ’embizzi’ abatawa bulamu kitiibwa, baviiriddeko okutta abantu babiri (2) okuli muwala wa Gen. Katumba Brenda Nantongo ssaako ne ddereeva we Haruna Kayondo.

Mungeri y’emu agamba nti wadde omukuumi, asobodde okutaasa Gen. Katumba olw’okukuba amasasi mu bbanga, abadde alina okutta abatemu, okusinga okubakaanga okudduka.

Museveni asuubiza okunoonya abatemu bakwattibwe n’okubalwanyisa nga bwe kibadde emyaka egiyise.

Wakati mu kunoonyereza, Museveni agamba nti waliwo ebituukiddwako ku batemu abakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba Wamala era agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda.

Museveni era agamba nti Gavumenti ye, egenda kweyambisa tekinologye, mu kulwanyisa abantu abakyamu abasukkiridde okweyambisa pikipiki n’emmotoka mu kuzza ebikolobero.