Munnamaggye Gen Katumba Wamala wadde mulwadde avuddeyo mu ddwaaliro lya Medipal International Hospital mu Kampala okwetaba ku mikolo gy’okuziika muwala we Branda Nantongo eyakubiddwa amasasi olunnaku olw’eggulo.
Brenda yattiddwa ne ddereeva Kayondo Haruna, oluvanyuma lw’abatemu okulumba Gen. Katumba e Kisaasi olunnaku olw’eggulo ku Mmakya.

Mu kiseera kino Gen Katumba atuuse mu makaage e Najjera okwetaba mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ssaako n’okuziika olunnaku olw’enkya e Kikandwa mu Tawuni Kanso y’e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono.