Poliisi eri mu kunoonya ssemaka ali mu gy’obukulu 42 ku misango gy’okutta mukyala we.

Ssemaka Jamada nga mutuuze ku kyalo Kyewanula mu ggoombolola y’e Lyantonde era mu disitulikiti y’e Lyantonde yanoonyezebwa.

Jamada yasse mukyala we Nailah Namata myaka 37 gw’abadde yakazaalamu abaana musanvu (7) ku bigambibwa nti abadde yafuna omusajja omulala era nga baludde nga basinda omukwano.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti Jamada, aludde nga yemulugunya ku kya mukyala we, okumulemesa okuddamu okubikula ku ssemakateeka era baludde nga balina obutakaanya.

Jamada yatemyetemye mukyala we mu kiro, okutuusa lwe yafudde era omulambo gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Wabula muganda w’omugenzi Sadat Waligo agamba nti omusajja abadde asukkiridde ebbuba era baludde nga balina obutakaanya n’okulemesa mukyala we, okwesembereza omusajja yenna.

Omukyala Namata attiddwa mu maaso g’abaana be.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Lyantonde okwekebejjebwa nga yatemeddwa ku mutwe, emikono, omugongo ssaako n’olubuto.

Wabula adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Lyantonde, Denis Odoki agamba nti wadde omulambo guwereddwa aba famire okuziikibwa, okunoonya ssemaka Jamada ku misango gy’okutta omuntu kutandikiddewo.

Ate Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasota mu ggoombolola y’e Maanyi mu disitulikiti  y’e Mityana, ssemaka Ssentongo Asaduh ali mu gy’obukulu 50 bw’asangiddwa ng’afiiridde mu nju ye enkya ya leero, ekirese abatuuze nga basobeddwa.

Okusinzira ku batuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’e kyalo Nsubuga John Kennedy, Ssentongo basembye okumulaba akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Ssentebe Nsubuga agamba nti Ssentongo yabadde atamidde nnyo era kiteeberezebwa nti okufa kwe kyavudde ku ttamiro.