Bamukwatammundu abatamanyiddwa basse omusubuuzi omugundivu Zayire Matovu, abadde asuubula emwanyi mu disitulikiti y’e Lwengo ate muganda we Morris Kato, naye akubiddwa amasasi era asigadde ali mu mbeera mbi.
Ettemu, likoleddwa ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ekikeseza olwaleero ku kyalo Kanku, e Kiwangala mu ggoombolola y’e Kisseka.
Okusinzira ku batuuze, Matovu ne muganda we Kato, baabadde mu mmotoka ekika kya Premo namba UAM 120N nga badda waka, abasajja nga bali mu jjaketi, eyeefaananyirizako eya Poliisi kwe kuwandagaza amasasi.
Matovu yafiiriddewo ate muganda we Kato yasigadde ali mu mbeera mbi nga abatemu okudduka, basobodde okweyambisa Pikipiki.
Mutabani w’omugenzi Denis Mpuuga wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu ku nsonga zaabwe okunoonya abasse kitaawe.
Ate adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Lwengo Peter Akampurira, agumiza abatuuze okusigala nga bakakamu era agamba nti mu kiseera kino okunoonyereza kutandikiddewo.
Ate ku nsonga y’abatemu okwambala jjaketi, eyeefaananyirizako eya Poliisi, Akampurira agamba nti bangi ku bantu abakyamu abasobola okwerimbika ng’abakozi mu kitongole kyabwe.
Ate Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga awanjagidde abakulembeze abalondeddwa, okuva ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga lino, okusoosowaza ensonga ezinyigiriza abantu ssaako n’ebyo ebiyinza okusiiga Gavumenti enziro.
Katikkiro Mayiga agamba nti okutumbula ebyobulamu, ebyenjigiriza, okulwanyisa obuli bw’enguzi bigenda kuyamba nnyo bannansi okweyagala n’okutambuza eggwanga lino mu mirembe.
Mayiga asinzidde mu kusaba mu kujjulira abajjulizi abattibwa ku kiggwa kya bajjulizi e Namugongo ku ludda olwa bakatuliki.
Ate amyuka sipiika wa Palamenti Among Anet Anita asobodde okweyambisa okusaba kwa leero, okusaba bannadiini okwongera okusabira eggwanga okuvunuka Covid-19.
Agamba nti ekirwadde kikoseza ensi yonna era bannadiini bebalina okuvaayo okwongera okusabira ensi.
Ate ku ludda olwa Bakulisitaayo, Omukulembeze w’eggwanga lino Gen. Yoweri Kaguta Museveni asabye bannadiini, okuyambako mu kusomesa abantu ebiyinza okubagya mu bwavu n’okukyusa embeera zaabwe.
Pulezidenti Museveni obubaka buno abuttise omuwandiisi wa Kabinenti John Mitala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1393463364355875