Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo okulwanyisa eky’abatemu okweyongera okulumba bannansi nga batambulira ku Pikipiki.

Mu Uganda, abakungu bangi battiddwa omuli eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi mu 2017, Munnamaggye Maj. Muhammad Kiggundu 2016, eyali omubaka we Arua Ibrahim Abiriga mu 2018, eyali amyuka Ssaabawaabi wa Gavumenti Joan Namazzi Kagezi mu 2015, eyali addumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira n’abalala kyokka bonna battiddwa ng’abatemu batambulira ku Pikipiki.

Kati no Pulezidenti Museveni agamba nti Gavumenti erina okukola mu bwangu okuteeka Tulaaka mu buli Pikipiki mu ggwanga lino.

Museveni agamba nti okuteeka Tulaaka mu Pikipiki, kigenda kuyamba nnyo okumanya entambula ya buli Pikipiki era singa omuntu yenna agyeyambisa okukola obulumbaganyi, ebitongole ebikuuma ddembe byakweyambisa Tulaaka okuzuula Pikipiki.

Museveni

Mungeri y’emu agamba nti n’amaato ku nnyanja, galina okuweebwa Tulaaka kiyambeko okukendeza ebikolobero ku mazzi.

Pulezidenti Museveni era agamba nti simusanyufu olwa kkooti okukkiriza abantu abakwattiddwa ku misango gy’obutemu okuyimbulwa.

Bwe yabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, Pulezidenti Museveni yasuubiza okuyita Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okuteesa ku nsonga eyo.

Agamba ekya kkooti okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gy’okutta abantu, balina okuddamu okukyekeneenya.

Museveni agamba nti okuyimbula abantu, kiyinza okunyiza abasirikale ne batandiika okutta abateeberezebwa okutta abantu nga basuubira singa batwalibwa mu kkooti, bagenda kuyimbulwa.

Ku nsonga y’ebyokwerinda mu ggwanga, Pulezidenti Museveni agamba nti embeera ekyali nungi mu ggwanga era bannansi tebalina kuba na kutya kwonna.

Agamba wadde Gen. Katumba Wamala yalumbiddwa, alina essuubi nti ku mulundi guno abatemu bagenda kukwatibwa nga beyambisa kkamera.

Museveni era agamba nti Gavumenti eyongedde okuteekawo embeera okulwanyisa ebikolobero omuli n’okweyambisa kkamera.

Mungeri y’emu yazzeemu okulagira ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi okuddamu okweyambisa Radio Call mu kutambuza emirimu okusinga okweyambisa amassimu.