Abamu ku bayizi balangiridde okufuna embutto mu nnaku zino 42, Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ze yagaddewo amassomero ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa Covid-19.

Pulezidenti Museveni agamba nti abakulira amassomero okulemwa okuteekesa mu nkola ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19, omuli okulagira abayizi okwamabala masiki ne badda ku nsonga ya kunoonya nsimbi, y’emu ku nsonga lwaki Covid-19, ayongedde okusanira amassomero.

Mungeri y’emu agamba nti Covid, yeyongedde mu baana wakati w’emyaka 10 – 19 nga singa basigala massomero, embeera eyinza okusajjuka.

Museveni yagadde amassomero n’amatendekero agawaggulu, okumala ennaku 42 n’okutandiika enkya ya leero.

Wabula abayizi abasangiddwa mu Kampala nga baddayo awaka okuva ku massomero ag’enjawulo, eky’okuggala amassomero wakati mu kulwanyisa Covid -19, bagamba nti bangi ku bo, bagenda kwetunda ssaako n’okufuna embutto.

Abamu bagamba nti ebirooto byabwe biyinza obutatuukirira ng’abamu tebagenda kudda ku massomero.

Abayizi ba massomero

Poliisi eyongedde okulabula aba bodaboda, abalemeddeko okusigala nga basabaza abantu okusukka essaawa ezakkiriziddwa.

Okusinzira ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, bodaboda zakusigala nga zikola okuva ku makya, okutuusa ssaawa 12, ez’akawungeezi.

Pulezidenti Museveni agamba nti bakooye okukwata abantu ne bajjuza amakkomera olw’okugyemera ebiragiro nga ku mulundi gunno, abantu bagenda kubayamu akasente mu ngeri ya ‘Fine’ singa bagyemera ebiragiro.

Kati no, Poliisi egamba nti ku mulundi guno, kigenda kuyamba nnyo, abantu okuteekesa mu nkola ebiragiro olw’okutya okubagyamu akasente kaabwe.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti aba bodaboda abali emputtu ku mulundi guno bagenda kubagyamu akasente.

Eddoboozi lya Enanga

Aba Takisi, bakangudde ku ddoboozi ku ngeri y’okuteekesa mu nkola ebiragiro eby’okutangira okutambuza Covid-19.

Okusinzira ku ssentebe w’ekibiina ekigata ekimu ku kiwayi kya Takisi ekya UTRADA, Mustafa Mayambala, olw’okutya omukulembeze w’eggwanga okuyimiriza entambula z’olukale, buli takisi okuyingira paaka n’okugikkiriza okutikka abantu, erina okuba n’ebisanyizo omuli Sanitayiza, Ddereeva ne Kondakita okwambala masiki, abasabaze bonna okwambala masiki ssaako n’okuteekawo ekifo, eky’okunaaba mu ngalo.

Mungeri y’emu n’abasabaze abeekoza ku ky’okwambala Masiki, eky’okulinya Takisi, balina okukyesonyiwa.

Mayambala

Mayambala mu ngeri y’emu agambye nti Takisi yonna etalina Kondakita, tebagenda kugikkiriza kuddamu kutikka bantu nga kikoleddwa okuteekawo embeera ey’okutangira okutambuza obulwadde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/313867963402232