Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alonze abantu 21 okuwereza ku kkooti y’amaggye mu ggwanga.

Mu bbaluwa eyateekeddwako omukono gwa Pulezidenti Museveni nga 8, June, 2021, Lt Gen Andrew Gutti azzeemu okulondebwa nga ssentebe wa kkooti.

Abalala abali ku kkooti y’amaggye kuliko Col Richard Tukacungurwa nga naye mulamuzi, abawaabi kuliko Lt Col Raphael Mugisha, Major Emmy Ekyaruhanga ne Captain Ambroz Guma.

Major Silas Kamanda Mutungi omuwolereza w’oludda oluwawabirwa, Lt Col John Bizimana ng’omuwandiisi wa kkooti ssaako Captain Fatumah Wakabani ne Captain Ruth Nabitakke.

Lt Gen. Andrew Gutti

Abalala abalondeddwa bapya ku kkooti y’amaggye mwe muli abawaabi ba kkooti basatu (3) Major Mark Kugonza, Lt Alex Lasto Mukhwana ne Lt Gift Mubehamwe.

Bannamaggye mukaaga (6) balondeddwa okutuula ku kkooti y’emaggye ne Lt Gen Gutti kuliko Brigadier James Rubahika, Col E. H Kitahunga, Col AK. Birungi, Captain G. Lubadde Sseguya, Captain Allen Kyosaba ne Warrant Officer Kenneth Arinaitwe.

Mungeri y’emu Pulezidenti Museveni alonze banamagye abalala era okukola emirimu gya kkooti omuli Brigadier Vincent Okello Ladii, Lt Col Damian Kato Abooki, Lt Col Christine Nekessa, Major Paul Tumukunde Miragire, Major Sarah Sonko Asiimwe, Col Jasper Abeka, Col Ibrahim Kedi, Major Herbert Ruhindi Mujungu, Major Richard Turyahabwe, Major Emmanuel Byaruhanga ne Captain Gift Ajiri Kaganda.

Bannamaggye abagiddwa ku kkooti y’amaggye mwe muli Major General Joseph Arocha, Brigadier George J. Etyang, Brigadier Francis Chemengich Chemo, Col. Frank Kyankonye, Col. David Gonyi, Lt. Col. Richard Nimanya, Major Douglas M. Owoyesiga, Warrant Officer George Matete. Lt. Col. Betty Musuya Wanyera, Major Richard Turyahabwe, Captain Glorious Natukunda, Captain Paul Mugerwa ne Warrant Officer Sunday YK Moses.

Omwogezi w’amaggye Brigadier Flavia Byekwaso akakasiza enkyukakyuka ezikoleddwa Pulezidenti Museveni.

Lt Gen Gutti yalondebwa nga ssentebe wa kkooti y’amaggye mu 2016 okudda mu bigere by’omugenzi Major General Levi Karuhanga eyafa mu Gwokuna mu 2016.

Ttiimu kabiriiti erondeddwa egenda kulemberamu okuwozesa basajja ba Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) abali ku kkooti y’amaggye ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.

Mutwe, Nubian n’abalala mu kkooti

Basajja ba Bobi Wine mwe muli Eddi Mutwe, Omuyimbi Nubian Li n’abalala abasukka 30.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/806958229951018