Newankubadde kkooti y’amaggye ekedde kuyimbula Eddie Mutwe, Nubian Li ssaako ne banaabwe 16 abaludde ku limanda ku misango mu kkomera e Kigo ne Kitalya, bonna abayimbuddwa, basigadde banakuwavu olw’embeera eri makkomera.

Mu kkooti ebadde ekubirizibwa ssentebe Lt Gen Andrew Gutti, bayimbuddwa olw’okumala emyezi mukaaga (6) nga bali ku limanda bukya bakwattibwa nga 30, December, 2020 era buli omu asabiddwa obukadde 20 ezitali za buliwo.

Mu ngeri y’emu bateekeddwako obukwakulizo obw’enjawulo, nga tebateekeddwa kutambula kusukka Kampala na Wakiso, okweyanjula mu kkooti emirundi 2 omwezi.

Ate ababeyimiridde okubadde amyuka Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) mu Buganda mu era akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Mathias Mpuuga, omuwandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina ki NUP Jeol Ssenyonyi, ssaako n’akulira okutendeka mu kibiina ki NUP Alex Waiswa Mufumbiro era basabiddwa obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.

Gutti, abasuubiza okuddamu okukwattibwa singa bagezzako, okugyemera ebiragiro buli byatekeddwako.

Wabula Nubian ssaako ne Eddie Mutwe mu kwogerako ne munnamawulire waffe Nakaayi Rashidah ku kitebe kya NUP e Kamwokya bagamba nti wadde bayimbuddwa, ekiri mu kkomera e Kitalya kiyungula amaziga.

Bano bagamba nti omujjuzo gusukkiridde makkomera, bangi ku baana abali makkomera abatalina ssuubi lya kudda mu kkooti, bangi balwadde era embeera gye balimu, yetaaga kusabira.

Nubian Li ne Mutwe

Ate banaabwe abayimbuddwa, bagamba nti wadde bakulungudde ebbanga lya myezi 6 ku limanda, bukya bakwatibwa nga balina essuubi nti baggya kuyimbulwa, kuba tebalina misango.

Mungeri y’emu, abamu bakulukusizza ku maziga olw’embeera embi eri makkomera nga baana bangi, bali ku misango gye batamanyiko wadde.

Ate Mathias Mpuuga, agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okuyamba abantu bonna abayimbuddwa.

Mpuuga mungeri y’emu asuubiza okweyambisa enkola ez’amateeka, emisango egibavunaanibwa okugibwako mu bwangu ddala.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa, baasangibwa n’amasasi 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka era baakwatibwa nga 30, December, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omu kw’abo abaali besimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga, bwe yali agenze okunoonya akalulu, mu kitundu ekyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/watch/live/?v=305492371261202&ref=watch_permalink