Kyaddaki kkooti y’amaggye eyimbudde Eddi Mutwe, Nubian Li ssaako ne banaabwe 16 abaludde ku limanda ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.

Bano basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye ebadde ekubirizibwa ssentebe Lt Gen Andrew Gutti enkya ya leero.
Mu kkooti, Gen. Gutti, abayimbudde olw’okumala emyezi mukaaga (6) nga bali ku limanda bukya bakwattibwa nga 30, December, 2020 era buli omu asabiddwa obukadde 20 ezitali za buliwo.

Mu ngeri y’emu bateekeddwako obukwakulizo obw’enjawulo, nga tebateekeddwa kutambula kusukka Kampala na Wakiso, okweyanjula mu kkooti emirundi 2 omwezi.

Ate ababeyimiridde kubaddeko amyuka Pulezidenti w’ekibiina ki NUP mu Buganda mu era akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Mathias Mpuuga, omuwandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina ki NUP Jeol Ssenyonyi, ssaako n’akulira okutendeka mu kibiina ki NUP Alex Waiswa Mufumbiro era basabiddwa obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.

Gutti, abasuubiza okuddamu okukwattibwa singa bagezzako, okugyemera ebiragiro buli omu byawereddwa.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa baasangibwa n’amasasi 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka era baakwatibwa nga 30, December, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omu kw’abo abaali besimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga, bwe yali agenze okunoonya akalulu, mu kitundu ekyo.