Poliisi eriko omukazi gw’ekutte ng’abadde akola mirimu gy’awaka muyite yaaya ate maama ku misango gy’okutta omwana we omuwala gw’abadde yakazaala.
Maama Nakanwagi Sarah nga mutuuze Kyetume mu Tawuni Kanso y’e Maddu mu disitulikiti y’e Ggomba yakwattiddwa ku by’okutta omwana we wa sabiiti 3.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti Maama Nakanwagi yakutte empiso mwe yatadde eddagala ly’ebisolo lye yakubye omwana we.
Omwana wadde yaddusiddwa mu Kiriniki y’oku kyalo ng’ali mu mbeera mbi, yafudde nga bakamutuusa.
Enanga agamba nti Maama Nakanwagi ali mu mikono gyabwe okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Ate Poliisi efulumiza alipoota y’ebidduka ebyakwatibwa sabiiti ewedde ssaako n’abantu olw’okugyema okuteeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni n’eminisitule y’ebyobulamu eby’okulwanyisa Covid-19.
Mw’alipoota efulumiziddwa, abantu abasukka 1,000 bakwattibwa omuli okusangibwa nga batambula mu ssaawa za kafyu, mu bbaala, emmotoka 376 ssaako ne Pikipiki ezisukka mu 3,000.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abamu ku bakwate bagenda kugibwako fayini.
Mungeri y’emu agambye nti mu bakwate mwe muli n’abakungu, baagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, abasangiddwa nga bali mu bbaala mu Kampala.
Kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka Kalittima omusuubuzi ku misango gy’okutta mukyala we ssaako n’abaana be basatu (3).
Ahimbisibwe Felix Vian amanyikiddwa nga Armstrong myaka 45 nga mutuuze we Butare mu ggoombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda yakwattiddwa.
Armstrong yasse mukyala we Rovinah Muheki myaka 43 n’abaana okuli ow’e 17, 15 ne 5 nga bonna yabookedde mu nnyumba ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ky’Olwomukaaga.
Okuva ku Lwomukaaga, abadde aliira ku nsiiko wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Elly Maate, agamba nti Poliisi nga yegatiddwako abatuuze basobodde okuzuula ssemaka omutemu nga yekwese mu nsiko ku kyalo Habutobere.
Maate agamba nti Armstrong yakubidde owa bodaboda okumuyamba, amutwale mu kitundu ekirala wabula owa Bodaboda yasobodde okutemya ku Poliisi n’abatuuze era enkya ya leero, bakedde kumuzingiza ne bamukwata.
Maate mu ngeri y’emu agambye nti omukwate essaawa yonna bakumutwala mu kkooti ku misango gy’okutta abantu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/305492371261202