Poliisi ekutte taata ku misango gy’okusirikira amawulire ag’omwana we okusobezebwako.
Omwana myaka munaana (8) ng’ali mu kibiina kyakubiri (P2) ku Kiboota Primary School mu Tawuni Kanso y’e Buheesi mu disitulikiti y’e Bunyangabu, yasobezeddwako jjajjaawe Joseph Kaganda.
Okusinzira kw’akulira Poliisi y’oku kitundu Hudson Opio, taata yalabudde omwana obutabaako muntu yenna gw’ategeeza nga jjaajjaawe agenda kuswala ssaako ne Famire era singa akikola, ayinza okumutta.
Wabula omu ku batuuze, yekengedde omwana eyabadde atambula ng’awenyera era bwe yamusuubiza okumuyisaamu kibooko, omwana eyabadde akulukusa amaziga, agamba nti jjajjaawe abadde amusobyako, nti mukyala we.
Omwana asangiddwa, ng’atandiise okuvunda ebitundu by’ekyama, ekyongedde okutabula abatuuze ssaako n’abakulembeze.
Mu sitetimenti ku Poliisi, omwana agamba nti abadde yakasobezebwako emirundi mukaaga (6).
Mu kiseera kino, taata Steven Jusi akwattiddwa olw’okusirikira amawulire ate jjajja abadde asobya ku mwana, aliira ku nsiko.
Wabula alipoota y’abasawo eraga nti omwana, bamuyuzizza ebitundu by’ekyama olwa ssedduvuto namukadde okumusobyako.
Ate waliwo omukyala akubiddwa abatuuze okutuusa lw’afudde bw’abadde agezaako, okubba Pikipiki.
Enkya ya leero owa bodaboda Derrick Mugabe mu Tawuni Kanso e Namutumba, akedde kufuna bakasitoma era abadde mukyala n’omusajja okubatwala mu katawuni k’e Kibaale.
Webatuuse mu kkubo, mu kifo ekirimu akabira, omukyala akutte munsawo era awadde omusajja ekiso okutema Mugabe.
Mugabe akubye omulaanga era Pikipiki agenze okugivaako nga yenna atonnya musaayi, kyokka ekirungi abatuuze, bawulidde omuntu akaaba nga yetaaga okuyambibwa.
Omukyala abadde ayagala okudduka, akubiddwa abatuuze okutuusa lw’afudde era omulambo gutwaliddwa, mu ddwaaliro e Iganga okwekebejjebwa.
Ate Mugabe nga naye ali mu ddwaaliro e Iganga agamba nti omukyala, abadde n’abasajja ab’enjawulo abalinze mu kibira era badduse olw’okutya okuttibwa abatuuze ssaako n’omusajja gw’abadde naye.
Pikipiki eviiriddeko omukyala okuttibwa, kika kya Bajaj namba UFD 132C wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East James Mubi agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.
Wadde omukyala attiddwa, Mubi avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo nga singa omuntu yenna attibwa, kiremesa Poliisi okunoonyereza, okuzuula ekituufu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/349187423448286