Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kalalu mu ggoombolola y’e Bumanya mu disitulikiti y’e Kaliro, omukyala bw’asse bba olw’obutakaanya mu nsonga z’omu kisenge.
Omukyala Jenipher Nakisendo myaka 45 agamba nti yalinze bba Fred Olukwagana ali mu gy’obukulu 60, okudda akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo kyokka teyakomyewo.
Nakisendo agamba nti omusajja teyamukubidde ssimu kumutegeeza nsonga yonna, kyokka yabadde amulinze, okusinda omukwano.
Enkya ya leero, omusajja olukomyewo, omukyala amukubye ekyuma ku mutwe emirundi 2 era agudde wansi nafiirawo.
Okusinzira ku Jackson Lubola, akulira ebyokwerinda ku kyalo, Nakisendo ne bba baludde nga balina obutakaanya ng’omukyala alumiriza bba, okumukaddiya kyokka abadde takyamulabawo nga yafuna abakyala abalala.
Mungeri y’emu omukyala Nakisendo aludde ng’alumirizza bba obunafu n’okukankana mu bagenda mu kaboozi kyokka byonna abadde abigumidde.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, Michael Kasadha agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.
Kasadha agamba nti wadde omukyala adduse ng’aliira ku nsiko mu kiseera kino, ali mu kunoonyezebwa ku misango gy’okutta omuntu.
Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro lya Bumanya health center IV okwekebejjebwa.