Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kireka, Polodyusa Daviri Allan bw’asangiddwa ng’attiddwa enkya ya leero.
Omulambo gwa Polodyusa Allan gusangiddwa mu nju mwabadde asula mu kitaba ky’omusaayi era gulabiddwa abatuuze omu ku baneyiba ku ssaawa nga 12 ez’okumakya ga leero ne batemya ku Poliisi.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Polodyusa Allan abadde alina situdiyo mu nju kyokka okumpi n’omulambo wasangiddwawo obwambe bubiri (2) nga akamu kaliko omusaayi.

Owoyesigyire agamba nti okunoonyereza kulaga nti waabaddewo okulwanagana okutuusa Polodyusa Allan lwe yattiddwa.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga Poliisi etandiise okunoonyereza.
Poliisi egamba nti abatuuze bagiddwako sitetimenti ezigenda okubayambako mu kunoonyereza kwabwe okuzuula abatemu n’ensonga lwaki yattiddwa.
Poliisi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna yakoze ekikwekweeto ku Kiriniki ‘Brocch Medical services’ e Gganda, Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa nga 11 ez’akawungeezi okuzuula eddagala lya Gavumenti eribibwa.
Poliisi egamba nti yafunye amawulire okuva mu batuuze nga waliwo emmotoka ezireeta eddagala lya Gavumenti ate mu Kiriniki y’obwannanyini.

Ekikwekweeto kyakulembeddwamu akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Nansana era emmotoka ekika Tippa yakwatiddwa ng’etikiddwako eddagala.

Eddagala kwabaddeko ebigambo “Joint Medical Stores, Nsambya”, “USAID” and “GOU-Not for sale”.
Asp Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi yakutte Nansi Patience Kilenzi ku misango gy’okubba eddagala.
Nansi Kilenzi akuumibwa ku Poliisi y’e Nansana.
Mungeri y’emu agamba nti ne Tippa namba UAP 088P eri ku Poliisi okuyambako mu kunoonyereza.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/124551269719944