Poliisi mu ggwanga erya Zimbabwe eriko Bamalaaya bekutte ku misango gy’okwenyigira mu kutambuza Covid-19.
Mu nsi yonna, buli ggwanga likola ebintu eby’enjawulo okutangira okutambuza obulwadde.
Mu kiseera kino, Zimbabwe ekwata kifo kya 116 ku nsi ezikoseddwa Covid-19 nga yakafuna abalwadde 41,628 ate yakafiisa abantu 1,666.
Gavumenti ya Emmerson Mnangagwa, yateekawo ebiragiro eby’enjawulo okutangira Covid-19 okusasaana omuli okwambala masiki, okutangira abantu okugenda mu bbaala, abantu okutambula ennyo.

Mungeri y’emu Pulezidenti Mnangagwa yawa ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi obuyinza okukwata abantu bonna abalemeddeko okumenya ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Poliisi yakoze ekikwekweeto mu bitundu bye Manicaland mu kibuga kye Mutare era yakutte abakyala abasukka mu 10 Bamalaaya nga bali mu kusinda mukwano mu loogi ez’enjawulo.

Abamu ku Bamalaaya


Abakyala bano bali wakati w’emyaka 25 – 30 era abamu bazadde nga balina abaana.
Bamalaaya bakwatiddwa n’abasajja mukaaga (6) era basangiddwa nga bali kwesa mpiki.

Omu ku Malaaya asangiddwa mu loogi ng’ali kuwaana Kasitoma we, “Daddy Katonda yakuwa Omusekuzo, yonna yiiyo sekula” era Poliisi okuyingira mu kasenge nga bali mu kikolwa.
Abamu ku batuuze bagamba nti bamalaaya beyongedde mu kitundu kyabwe nga betuunda wakati wa shs 3,000 – 5,000 eza Zimbabwe.
Poliisi egamba nti Bamalaaya okwetunda ku basajja abenjawulo, kikoze nnyo mu kutambuza Covid-19 ku bantu ab’enjawulo.

Lwaki beyongedde!
Ensi yonna abali mu maziga olwa Covid-19, emirimu giweddewo era y’emu ku nsonga lwaki okwetunda kweyongedde.
Mu Zimbabwe, bangi ku baana abawala begumbulidde okwetunda kuba y’emu ku ngeri mwe bayita okunoonya ssente okwebezaawo.
Olwa Bamalaaya okweyongera, n’endwadde z’obukaba bweyongedde era waliwo okutya nti wakati mu kwetangira Covid-19, ate bangi ku bannansi bagenda kulwala ebirwadde.

Mu Nigeria, Malaaya omu ayinza okwebaka n’abasajja abasukka mu 10 mu wiiki, ekintu eky’obulabe mu kulwanyisa obulwadde.

Mu nsi yonna, Covid-19 yakatta abantu 178,965,038 ate abaakafa 3,875,687 okusinzira ku Data wa Worldometer’s COVID-19 nga mu Africa, bangi bafudde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3913774158734002