Poliisi olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga yakutte omu ku baddereeva ku misango gy’okweyambisa emmotoka ya Poliisi okutambuza abantu, ekintu ekiyinza okusasaanya Covid-19.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ddereeva Sgt Christopher Opio, yakwattiddwa.
Enanga agamba nti Sgt. Opio okweyambisa emmotoka ya Poliisi okutambuza abantu, yagyemedde ebirabiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni n’eminisitule y’ebyobulamu eby’okulwanyisa Covid-19.

Vidiyo ya Sgt. Opio yatambudde ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book era Enanga asabye abantu okwongera okuyamba ku Poliisi okukwata vidiyo ku bantu abegumbulidde okumenya amateeka.
Sgt. Opio wakutwalibwa mu kakiiko ka Poliisi akakwasisa empisa n’amateeka era singa emisango gimukka mu vvi, ayinza okugobwa mu Poliisi.
Ku lunnaku Olwokutaano, Pulezidenti Museveni yayimiriza emmotoka zonna okutambuza abantu okumala ennaku 42 nga kyakoleddwa okuyambako mu kutangira Covid-19 okusasaana.

Ate Poliisi y’e Kabalagala ekutte Tony Taban Sulaiman Malish amanyikiddwa nga Don Solomon ku misango gy’okubba amasanyalaze.
Don Solomon akwattiddwa oluvanyuma lw’abakulira Hoteero ya Speke e Munyonyo okutwala okwemulugunya kwabwe ku Poliisi y’e Kabalagala.
Asp Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Don Solomon wakutwalibwa mu kkooti enkya ku Mmande nga 20, June, 2021.