Wakati mu kulwanyisa Covid-19, abantu balina ebirowoozo bingi ku ngeri y’okutambuza obulamu nga betaaga ssente.
Mu kiseera kino ensi yonna efukamidde olw’ekirwadde kya Covid-19, abantu bafudde, abalwadde beyongedde obungi ate mu Africa, okutya kweyongedde.
Abakulembeze mu Africa bagamba nti Covid-19 akoseza nnyo ensi eziyitibwa ‘First World’ omuli America, India, Brazil, France, Turkey, Russia, Bungereza, Argentina, Italy ate nga balina buli kimu mu malwaliro, ekitali mu Africa.
Mu kiseera kino America yakazuula abantu 34,401,712 abalwadde ate abaakafa 617,083, India yakafuna abalwadde 29,881,965, abaakafa 386,740, Brazil yakazuula abalwadde 17,883,750, abaakafa 500,868, France erina abalwadde 5,755,496 ate abaakafa 110,724.
Ate Turkey mu kiseera kino yakazuula abalwadde 5,365,208, abaakafa 49,122, Russia erina abalwadde 5,299,215, abaakafa 128,911, Bungereza 4,620,968 ate abaakafa 127,970, Argentina mu kiseera kino erina abalwadde 4,258,394 ate abaakafa 88,742, Italy nga nayo y’emu ku nsi ezikoseddwa erina abalwadde 4,252,095 ate abaakafa 127,253, ekyongedde okweralikiriza abakulembeze mu Africa ne bannansi bonna.
Kati no ku mikutu migatta bantu, waliwo vidiyo ebadde etambula ng’omusajja ali mu birowoozo era bimulemeseza n’okusinda omukwano.
Mu Vidiyo, omukyala yalumbye omusajja ng’ali mu ssanyu yetegese kusinda mukwano wabula omusajja eyabadde mu birowoozo, yamugobye.
Omusajja asabye mukyala we Agness okugenda mu nnyumba kuba ye ali mu birowoozo bya kunoonya ssente.
Omusajja agamba nti ali mu birowoozo bya kunoonya ssente ate Agness aleeta mubiri.
Ki eyinza okuddako!
Alipoota za Poliisi mu nsi ez’enjawulo ziraga nti obutabanguko mu maka bweyongedde olw’omuggalo gwa Covid-19.
Abantu balina ebirowoozo nga bivudde ku bintu eby’enjawulo omuli Covid-19, ssente okubula ate nga balina obuvunaanyizibwa omuli okunoonya eky’okulya, okusasula amayumba, okulabirira abaana ssaako n’ebintu ebirala.
Vidiyo