Baine abyogedde, kino kye bayita obutamanya amateeka!
Kyaddaki ekitongole eky’amakkomera, kivuddeyo ku bigambibwa nti baatulugunya bannakibiina ki NUP abaali bakwatibwa ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli amasasi mu ngeri emanya amateeka.
Aba NUP omuli Eddie Mutwe, Nubian Li n’abalala abaali bakwatibwa nga 30, December, 2020 bonna bakkiriziddwa okweyimirirwa nga basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye.
Mu kuyimbulwa, basabiddwa okweyanjula mu kkooti emirundi 2 buli mwezi, okutambula obutasukka Kampala na Wakiso okutuusa ng’emisango gyabwe giwedde.

Wabula nga bayimbuddwa, baakulukusiza amaziga ku mbeera mbi, ebadde mu kkomera e Kitalya mu kwebaka, okulya obubi, omujjuzo ogusukkiridde ssaako n’obukyafu obusukkiridde.
Nubian ne Eddie Mutwe bagamba nti embeera eri mu kkomera e Kitalya, yabalese ebatyobodde ekitiibwa kyabwe nga bayambulwa, okutwala ebintu byabwe, okusalwako enviri ssaako n’okutyoboola eddembe lyabwe.
Wabula omwogezi w’ekitongole ky’amakkomera Frank Baine abajjukiza nti mu kkomera ebintu birina okukyusa nga si kifo kya kulya masaali wadde okulya obulamu.

Baine mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agamba nti balina okuteeka mu nkola sseemateeka abatwala, omuli okwekebejja buli musibe ayingizibwa, okumanya embeera gy’alimu, enkovu ezimuliko, nga byonna okolebwa, buli musibe balina okumwambula.
Mungeri y’emu agamba nti abasibe bayinza okuyinza ebintu ebitakkirizibwa nga balina okubekebejja mu nviiri, enkwawa, ebitundu by’ekyama ssaako ne munyindo.
Baine era asekeredde Eddie Mutwe ne banne okulukusa obuziga obwa goonya nga baali balowoozo singa batuuka mu kkomera bagenda kutwala nga basereebu.
Alabudde nti bo emirimu gyabwe gitambulira mateeka wabula si byabufuzi.
Ate omubaka we Makindye East mu Palamenti y’eggwanga Derrick Nyeko awandikidde ssaabaminisita w’eggwanga lino Robinah Nabbanja, okuyingira mu nsonga eziyinza okuviirako, abantu okweyongera okufa.

Nyeko agamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’abantu bali ku muggalo, bangi tebalina kyakulya nga singa tebayambibwa ate mu bwangu, boolekedde okufa.
Mungeri y’emu anokoddeyo embeera y’abasuubuzi abali mu kutya nti emirimu gyabwe gyolekedde okusaanawo omuli obutakola ate nga ‘Loan’ zeyongera, amasanyalaze ssente zeyongera buli lunnaku ssaako n’okupangisa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/597200127917940