Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kigudde mu lukwe nti waliwo abategese, okwekalakaasa nga bawakanya ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, ebiyambako, mu kutangira okusasaanya Covid-19.
Uganda mu kiseera kino yakazuula abalwadde 71,543 ate abaakafa bali 660 ate abawonye bali 49,532.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, waliwo abasuubuzi abalemeddeko okumenya ebiragiro naye nga balina okudda ku mirimu gyabwe.
Enanga agamba nti Poliisi efunye amawulire nti waliwo bannabyabufuzi abakulembeddemu okunga abantu okwekalakaasa okusobola okuddayo ku mirimu gyabwe.
Poliisi egamba nti entekateeka zigenda mu maaso mu bitundu eby’enjawulo omuli e Kikuubo, Kisekka, Makindye ne Masaka era abasirikale mu bitundu ebyo, basabiddwa okuba obulindala.
Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti obulwadde bukyaliwo ate bweyongedde, tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso ku nsonga z’okwekalakaasa.
Mungeri y’emu Poliisi efulumizza alipoota y’abantu abaakwattiddwa sabiiti ewedde, ku by’okugyemera ebiragiro bya Pulezidenti Museveni ne Minisitule y’ebyobulamu omuli n’okutambula mu ssaawa za Kafyu.
Mu lipoota efulumiziddwa, Poliisi yakwata abantu 857, emmotoka 600 ne Pikipiki 2762.
Mu biragiro ebiggya, kafyu alina okutandiika ku ssaawa 1 (7:00PM) ey’akawungeezi era abantu bonna balina okuba awaka ate Pikipiki zirina okukoma okutambuza ebitereke ku ssaawa 12 (6:00PM).
Ate Poliisi mu bitundu bye Jinja ekoze ekikwekweeto ku bantu abegumbulidde okuzimuula ebiragiro bya Pulezidenti Museveni eby’okulwanyisa Covid-19.
Poliisi egamba nti abantu begumbulidde okuyita mu Ppanya ne batuuka mu kibuga kye Jinja, ekintu eky’obulabe ekiyinza okutambuza obulwadde.
Mu kikwekweeto, emmotoka eziri 40 zikwattiddwa ng’abantu abamu basangiddwa nga balina ebiwandiiko ebijingirire ate abalala basobodde okudduka.
Wabula akola ng’addumira Poliisi mu bitundu bye y’e Kiira Mourice Niyonzima agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso.
Ate abadde akulira ekibiina ekigatta bannekolera gyange mu ggwanga ki Private Sector Foundation of Uganda (PSFU) Gideon Badagawa afudde ku myaka 54.
Mungeri y’emu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye gavumenti okukwata ensonga y’abasawo abali ku mulimu gw’okujanjaba abalwadde ba Covid-19 mu ngeri ey’enjawulo.
Dr. Kaziimba agamba nti abasawo banji bafudde ng’embeera mwebafiira yelaliikiriza ekintu ekiyinza okutiisa abakyali ku mulimu gwokutaasa eggwanga.
Ono yabadde mu kusaba mu makaage e Namirembe era yasobodde okusabira eggwanga ku mbeera ya Covid-19.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/597200127917940