Mu nsi, Katonda yatonda abantu abalungi bangi era kizibu nnyo abalungi okugwayo n’okusingira ddala ba ‘Model’.
Wano mu Africa, bangi ku baana abawala abalabika obulungi begumbulidde okuyingira bwa Model ssaako n’okunoonya ssente okwebezaawo.

Olunnaku olwaleero tukuletedde ‘Faith Nketsi’ omu ku ‘Model’ mu Africa nga munnansi w’eggwanga erya South Africa.
Nketsi yazaalibwa nga 30, December, 1994, mu kibuga Johannesburg, South Africa era alina emyaka 26.

Ku myaka 26, y’omu ku ba ‘Model’ abegulidde erinnya mu South Africa, alina emirimu egy’anjawulo omuli n’okuyamba Kkampuni okutunda ebintu byabwe ku mitimbagano.

Nketsi yali muzinnyi mu kibiina ki “Pro-Twerkers” kyokka oluvanyuma yakivaamu okukola emirimu egya Model.
