Omuyimbi Winnie Nakanwagi amanyikiddwa nga Winnie Nwagi ayongedde okulaga nti mu nsi akola bimuwa ssanyu, tali ku bigambo by’abantu.
Nwagi y’omu bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba ate mukyala si wa ntalo wabula okukola ebintu eby’enjawulo okutumbula talenti.
Alina ennyimba ez’enjawulo omuli Amaaso, Musawo, Katono Katono, Yitayo, Jangu, Kibulamu n’endala, ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo.
Nwagi alemeddeko!
Nwagi alemeddeko okukola ebintu ebimunyumira ng’omuntu wadde waliwo abamu ku bawagizi be abasigala nga banyivu.
Ku mukutu ogwa Instagram, Face Book, akola ebintu eby’enjawulo okwesanyusa n’okusingira ddala vidiyo n’ebifaananyi ng’ali kulya bulamu era y’agambye nti, “Be your own inspiration”.
Olunnaku olw’eggulo, yatadde vidiyo ku Instagram ng’ali mu ggiimu kyokka aliko engeri gye yakutte ku mpale okugisa wansi era bangi ku basajja abalina amaddu yabalese basabbaladde.
Embeera ya Covid-19!
Uganda okuva omwaka oguwedde mu March, 2020, embeera eyongedde okukyuka olwa Covid-19 era ebivvulu byonna byayimirizibwa.
Mu kiseera kino abayimbi bali mu mbeera si nungi nga balina okunoonya ebintu eby’enjawulo okutwaliriza obudde kuba balina ebirowoozo.
Buli muyimbi eyali ayimiriddewo n’okuyimba, ebintu sibirungi kuba ssente zifuluma kyokka tayingiza era y’emu ku nsonga lwaki bangi obasanga mu ggiimu okukuuma ffiiga n’okulwanyisa omugejjo.
Gavumenti yalemwa!
Gavumenti yateekawo amateeka okulwanyisa obuseegu mu ggwanga erya anti-pornography Law n’okusingira ddala ku bayimbi kyokka kirabika etteeka lyasigala mu bitabo.
Mu tteeka, omuntu yenna okwambala mu ngeri eyinza okulaga ebitundu by’omubiri, kiraga nti amenye etteeka.
Singa etteeka liteekebwa mu nkola, abayimbi bangi bayinza okusibwa olw’engeri gye basabbalaza abantu ku mikutu gyabwe kuba bangi begumbulidde okwambala mmini.
Vidiyo ya Nwagi
Ebirala ebifa mu ggwanga _ https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/394821755207072