Omukyala akubye mukyala munne lwa waaya!

Waliwo omukyala akubye mukyala munne emiggo ku bigambibwa nti abadde amwagalira omusajja, ekiwadde abatuuze essanyu.
Okusinzira ku Vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli Whatsapp, omukyala abadde ayogera Luganda era kiraga nti ayinza okuba mutuuze wano mu Buganda kyokka akangudde ku ddoboozi okutaasa obufumbo n’okwongera okukuuma omusajja.

Mu vidiyo, omukyala alaga nti waliwo omuwala abadde amwagalira omusajja era asobodde okumunoonya.
Omuwala oluzuuliddwa, bamugalamiza wansi era amukubye emiggo nga bw’amulabula okwesonyiwa bba.

Abamu ku batuuze balabudde omuwala, “munoonye basajja bamwe, todangamu kumuwaako“.

Ate omukyala abadde abonereza omuwala agambye nti, “ebyo bye bizibu ebisangibwa mu kukwana abasajja abatali babo“.

Omuwala wakati mu kulukusa amaziga agambye nti, “Simuwangako era munkubira bwereere“.

Mu nsi yonna, tewali mukyala yenna ayinza kusirika busirisi nga bba alina abakyala abalala kuba ekyo, kivuddeko n’abakyala okutta bakyala banaabwe, abakyala okutta abasajja olw’obusungu, abakyala okweyiira asidi n’engeri endala.

Obwezi mu maka!
Obwenzi bweyongedde mu bagaalana naye kivudde ku bintu eby’enjawulo ng’ebimu kizibu nnyo okubyewala.
Waliwo abantu nga bawankawanka era abo kizibu nnyo okutebenkera, wadde omusajja oba omukyala amuwadde buli kimu mu nsonga z’omu kisenge, era alina okunoonya omuntu omulala.
Abalala bayinza okwenda nga kivudde ku bintu eby’enjawulo omuli omusajja oba omukyala obutawa munne budde, okulemwa okumatiza omukyala oba omusajja mu kaboozi, embeera embi ng’omukyala oba omusajja asuubiziddwa obulamu obulungi, abamu sitaani abakema n’ebintu ebirala.

Vidiyo