Abamu ku bakyala mu bitundu by’omu Kirombe mu Divizoni y’e Nakawa East mu Kampala, bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuyamba okwongezaayo essaawa za Kafyu, kiyambeko abasajja okuwumulamu mu nsonga z’omu kisenge.
Abakyala bano, bagamba olwa basajja okuyingira ku ssaawa 1 ey’akawungeezi, bangi ku ssaawa 2 ez’ekiro balemerako nga betaaga omukwano era bakikola ng’abaana bakyawulira.
Abamu bagamba nti abasajja, bakuuta ekyuma okutuusa obudde okukya, era bo bakooye kaboozi mu kiseera kino eky’omuggalo.
Nga bakulembeddwamu Kyakuwoile Reste ne Byoobona Gift basabye Pulezidenti Museveni okubayamba okwongezaayo essaawa za Kafyu, kiyambeko n’abasajja okuyingira ng’obudde bugeenze.
Kyakuwoile agamba nti omusajja ayinza okunyumya akaboozi nga takoowa, ebintu by’ekyama ne bituuka n’okubuguma era kati bangi ku bakyala batya okuyingira mu bisenge ng’obudde bukyali olw’okutya akaboozi.
Byoobona agamba nti olw’abasajja obutakola, balina obudde bungi obunyumya akaboozi nga tebakoowa era kati basaba Gavumenti ebayambe.
Bagamba nti Pulezidenti Museveni okwongezaayo essaawa za Kafyu, kye kiyinza okubayamba naya bakooye akaboozi.