Kyaddaki Poliisi ekutte abatemu, abakola obulumbaganyi ku Minisita w’ebyenguudo n’emirimu Gen. Katumba Wamala omwezi oguwedde kyokka omu ku batemu tasimatuse era attiddwa.

Gen. Katumba yalumbibwa nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga mu zzooni y’omu Kisaasi mu Kampala, abasajja abaali ku Pikipiki era muwala we, Nantongo Brenda yattibwa nga yakubiddwa amasasi ne Ddereeva we Sgt. Haruna Kayondo.

Wabula akawungeezi ka leero, amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen. Paul Lokech mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru omusasi waffe Nalule Aminah gy’abadde, agambye nti abatemu bonna abana (4) abaali ku Pikipiki bakwattiddwa kyokka omu ku batemu, attiddwa bw’abadde agezaako okulwanyisa abasirikale.

Abakwate bagiddwa Kawanda, Nansana, Katooke ssaako ne Kikaaya, mu kikwekweeto ekikulungudde essaawa 24.

Lokech agamba nti omutemu Hussein Wahab Lubwama amanyikiddwa nga Master attiddwa ate abali makkomera mwe muli Walusimbi Kamada nga yeeyita Mudinka ssaako ne gwe yali avuga amanyikiddwa nga ‘Kanaabe’.

Gen. Lokech ng’alaga Hussein Wahab Lubwama

Master ng’abadde mutuuze Kyebando mu Monisipaali y’e Nansana, ye mutemu eyakuba amasasi agatta Ddereeva Kayondo ssaako n’omuwala Nantongo.

Gen. Lokech

Oluvanyuma lw’okulumba Gen. Katumba n’okutta, emu ku mmundu yatwalibwa era yakwasibwa Muhammad Kagugube eyagikwasa Kisambira Siriman amanyikiddwa nga Mukwasi omutuuze we Kawanda.

Kisambira emmundu yagitwala nagikwasa omusajja omulala Mustafa Kawawa Ramadan amanyikiddwa nga Amin omutuuze we Maganjo B, e Nabweru, era okugitambuza, yasobola okweyambisa ebbookisi ta Ttiivi yinki 42.

Emmundu emu yazuuliddwa nga yaziikibwa mu lusuku lwa matooke ewa Mukwasi kyokka emmundu ey’okubiri ekyanoonyezebwa.

Lokech agamba nti abatemu, basibuka mu kabinja k’abatujju aka ADF era mukama waabwe Shiek Obadia yadduse nga mu kiseera kino ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga lya Congo.

Lokech ng’alaga eggwanga Obadia

Lokech era agamba nti akabinja k’abatujju kano, bebaakola obulumbaganyi ku Cheap Hard Ware e Nansana mu 2019 ne batta abantu basatu (3), okutta abantu ab’enjawulo omuli Maj. Muhammad Kiggundu e Masanafu mu 2016.

Ate mu kukwattibwa, basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo ebigambibwa okweyambisibwa nga bakola bboomu ssaako ne Helementi ya Bulaaka, Jaketi 10 ne Pikipiki eyabatambuza.

Wabula kinnajjukirwa nti ku Mmande ya sabiiti eno, Poliisi eriko abantu babiri (2) beyasindise mu kkooti era basindikiddwa mu kkomera e Kitalya.

Bano kuliko Sserubula Hussein Ismael amanyikiddwa nga Imamu Muto ne Nyanzi Yusuf Siraji myaka 46 ku misango 2 egy’obutemu n’emisango 2, egy’okwagala okutemula abantu.

Sserubula Hussein ne Nyanzi Yusuf mu kkooti

Ku basindikiddwa mu kkooti, Sserubula musajja avuga bodaboda nga mutuuze we Nakuwade e Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso ate Nyanzi Siraji mutuunzi wa ddagala gganda nga mutuuze we Kyanja e Nakawa mu Kampala.

Bonna basiimbiddwa mu kkooti e Nakawa era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 3, omwezi ogujja Ogwomunaana, 2021.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, yagambye nti okweyambisa obujjulizi bwa kkamera n’abatuuze abaaliwo ng’ettemu likolebwa, y’emu ku nsonga lwaki Sserubula ne Nyanzi basiindikiddwa mu kkomera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1659157960948026