Poliisi y’e Apac ekutte taata Tom Obote myaka 52 ku misango gy’okusobya ku mwana we gwe yezaalira myaka munaana (8).

Taata Obote nga mutuuze ku kyalo Ayomjeri mu ggoombolola y’e Apac mu disitulikiti y’e Apac, atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi y’e Apac.

Obote okukwatibwa, kivudde ku mwana okutemya ku batuuze.

Omwana (amannya gasirikiddwa) agamba nti kitaawe Obote abadde amusobyako okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 nga yatandikirawo okumukozesa oluvanyuma lwa nnyina okunoba.

Wakati mu kulukusa amaziga, omwana agamba nti maama yanoba bwe yali akooye okulwanagana ne Kitaawe.

David Okao, ssentebe w’ekyalo Ayom-jeri agamba nti Obote abadde abeera n’abaana mukaaga (6) mu nju oluvanyuma lwa mukyala we okunoba.

Okao era agamba nti omwana okuvaayo, abadde atandise okuvunda ebitundu by’ekyama.

Enkya ya leero, Obote asimatuse okuttibwa abatuuze ku by’okusobya ku mwana we era Poliisi mangu ddala emututte ku kitebe kya Poliisi.

Ku Poliisi, aguddwako omusango gw’okusobya ku mwana omuto oguli ku fayiro nnamba SD Ref 24/30/06/2021.

Adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Apac Henry Mpirwe agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku musango ogwo.

Ate Poliisi e Mukono ekutte abakyala babiri (2) ku misango gy’okusangibwa nga bagguddewo ebbaala mu Katale k’e Kame Valley e Mukono.

Mu kikwekweeto ekikulembeddwamu akulira ebikwekweeto ku Poliisi y’e Mukono ASP Michael Wandulu, abakyala abakwattiddwa, basangiddwa bali mu kunoga nsimbi ate ng’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni, yaggala ebbaala zonna.

Mu kwogera kwe okusembyeyo, Museveni yalagidde ebitongole ebikuuma ddembe okulondoola ebbaala zonna era singa omuntu yenna asangibwa ng’ebbaala nzigule, balina okumuggyako layisinsi.

Wabula Afande Wandulu agamba nti abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Mukono era bagenda kubakolako ng’amateeka bwegakola.