Mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, abasawo bagamba nti okukola dduyiro kiyamba nnyo okutekateeka omubiri mu kulwanyisa obulwadde.
Dduyiro ayamba nnyo okuzukusa obusirikale mu mubiri, ekiyamba mu kulwanyisa obulwadde obw’ebika eby’enjawulo.
Mu nsi yonna, abantu bakola dduyiro nga kivudde ku bintu eby’enjawulo kuba ayamba nnyo mu kulwanyisa endwadde n’okwekuumira ku mutindo.
Ebimu ku birungi ebiri mu kukola dduyiro mwe muli
1 – Ayamba omuntu yenna okufuna ssanyu kuba ayambako mu kulwanyisa ebirowoozo.
2 – Ayamba abantu okusala omugejjo
3 – Ayamba nnyo ebinywa okukola obulungi n’ekikuuma omubiri nga guli ‘fiti’.
4 – Abasawo era bagamba nti dduyiro ayamba nnyo omubiri okufuna amaanyi, ekiyamba mu kulwanyisa endwadde.
5 – Omuntu yenna singa ajjumbira okukajjuza, kiyamba mu kwetangira endwadde omuli sukkali, endwadde z’emitima, okusanyalala n’endala.
6 – Ayamba nnyo okulwanyisa endwadde zonna eziyinza okukwata olususu.
7 – Ate abasawo abakugu ku bulamu bw’abantu bagamba nti dduyiro ayamba omubiri okufuna amaanyi n’obwongo okukola obulungi omuli n’okujjukira ennyo.
8 – Waliwo abantu nga bafuna obuzibu mu kwebaka obulungi, abasawo bagamba nti ayamba nnyo abantu okwebaka obulungi.

9 – Waliwo abantu nga balina obulumi n’okusingira ddala mu nnyingo wabula abasawo bagamba nti ayamba nnyo okulwanyisa obulumi obw’ebika obw’enjawulo.
10 – Abasawo era bagamba nti waliwo abasajja oba abakyala abalina obuzibu mu nsonga z’omu kisenge nga tebamalaako bulungi ssaako n’okukoowa amaangi wabula ayamba nnyo okuwangalira mu kisaawe.
Okusinzira ku ssenga Kawomera, waliwo abakyala nga balina obuzibu, balemesa abasajja okutuuka ku ntikko nga bakooye ku rawundi esooka oba ey’okubiri.
Kawomera agamba nti singa omukyala yenna ajjumbira okukola dduyiro, ayinza okutwala omusajja rawundi ez’enjawulo nga tannakoowa, ekiyamba okuwangaza essanyu mu maka.
Mu vidiyo, eraga abakyala ab’enjawulo nga bakola dduyiro ate nga bonna basanyufu ku bigenda mu maaso.
Gwe bakola, kiraga nti bali mu kwetegekera okumira zubbula z’abasajja kuba enkyusa y’ekiwato, ekyamudde abamu ku basajja.
Ssenga Kawomera agamba nti omukyala yenna ng’ali ‘Fiti’ ate ng’alina ‘sikiiru’ mu nsonga z’omu kisenge, kyongera okuwa abasajja essanyu abamwettanira ate bw’aba mukyala mufumbo, kiyamba nnyo okutangira omusajja okwenda.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/349274956555968