Mu nsi ya laavu, sikyangu okufuna omuntu omutuufu mu nsonga z’omukwano, abamu bafere, abalala babbi, abamu batemu, mulimu abenzi era Katonda buli omu gw’alina okwekwata.
Mu vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Instagram, waliwo omuwala eyekobaanye ne bakwano be okubba muganzi we.
Omuwala yatuuse mu kafo akamu akasanyukirwamu okusisinkana muganzi we ng’ali ne mikwano gye era omusajja yabadde musanyufu nnyo olw’okuddamu okulaba ku girlfriend we.
Omusajja yagulidde girlfriend we ne mikwano gye eby’okulya kyokka oluvanyuma lw’okusasaanya ssente ze, yasabye omuwala okuzina bombi.
Omusajja olwakutte omuwala mu kiwato, bambi yabadde ali mu laavu era yabadde ali mu kunywegera ng’omuwala ali mu kubba ebintu bye.
Omuwala yakutte omusajja mu nsawo y’ekkooti era obwedda agyamu ebintu mu nsawo nga bwawa mikwano gye.
Omusajja okunywegera kwamutwalidde ebirowoozo era omuwala yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okubba ebintu bye.
Vidiyo