Abamu ku bakyala, abakolera mu katale k’e Kame mu disitulikiti y’e Mukono, balemeddeko okusigala nga baddayo awaka newankubadde omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni yakkiriza abakyala abatunda emmere mu butale okusigala nga bakola kyokka nga balina kusula mu katale.
Abakyala bano, bagamba nti abasajja betaaga saviisi mu nsonga z’omu kisenge ate nga taliiko budde, nga singa basula mu katale, abasajja, bayinza okuddamu okubasuulawo.
Bagamba nti omuggalo ogwasooka, bangi ku basajja badduka ne bafuna abakyala abalala mu kiseera nga basula mu katale era ku mulundi guno, abamu ku baasobola okusigaza abasajja baabwe, balemeddeko okuddayo awaka, okwongera okukyamula abasajja mu nsonga z’okusinda omukwano.
Bano nga bakulembeddwamu Racheal Namuddu, agamba nti abasajja, bekwasa nti abakyala abali mu bwenzi nga berimbise ku ky’okusula mu katale era bamu basuddewo amaka.
Waliwo abagamba nti olw’okutangira abasajja okusobya ku baana, balina okudda awaka kuba abamu balina abaana abawala ate nga bakulu.
Ate waliwo abakyala abalala nga bakulembeddwamu Tracy Kabagenyi bagamba nti bo, betegese okusula mu katale singa abakulembeze bakola ku nsonga ezibanyigiriza omuli ebyokwerinda, amasanyalaze, amazzi mu katale kiyambeko ku nsonga y’obuyonjo ssaako ne Minisitule y’ebyobulamu okubalowozaako ku nsonga y’okubasindikira obutimba bw’ensiri.
Wabula ssentebe w’akatale Geoffrey Sserunjogi agamba nti ku muggalo ogwasooka, famire ezisukka 20 zafuna obuzibu nga kivudde ku bakyala okusula mu katale.
Agamba nti yakazaawo famire 10 zokka, endala zikyalimu okusika omuguwa nga y’emu ku nsonga lwaki ku mulundi guno, abakyala bangi batya okusula mu katale okuggyako bannakyeyombekedde.
Ate Poliisi etandiise okunoonya abatuuze, abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta abantu babiri (2) ku misango gy’okubba ente.
Abattiddwa baalumbye ekyalo Katugu mu ggoombolola y’e Nalweyo mu disitulikiti y’e Kakumiro, ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero ku Mmande nga bageenze okuba ente.
Wabula omu ku batuuze akubye enduulu, esobodde abatuuze bonna, abaludde nga banoonya ababbi b’ente ku kyalo kyabwe.
Ababbi bakubiddwa, okutuusa lwe battiddwa era ssentebe w’ekyalo Yosam Kwikiriza agenze okutuuka, okuyita Poliisi nga batuuze balemeddeko okubateekeera omuliro.
Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo era agamba nti Poliisi etandiise okunoonya abatuuze bonna.
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro okwekebejjebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/187240559923083