Waliwo omukyala ow’olubuto, asangiddwa ng’ali mu kaboozi n’omusajja omulala mu loogi, ekirese abatuuze nga basobeddwa.
Omukyala ali lubuto lwa myezi mukaaga (6) era kigambibwa yasabye bba okugenda mu ddwaaliro okunywa eddagala.
Wabula omukyala yabadde yakageenda, omusajja yafunye amawulire nti mukyala we alabiddwako ng’ali n’omusajja omulala bayingira loogi, ekintu ekyatabudde omusajja.
Omusajja nannyini mukyala yakubidde mikwano gye amassimu, okwanguya okumuyambako okuzuula amazima.

Ssemaka yatuuse mu loogi, era amaaso gatuukidde ku mukyala we ng’ali kusinda mukwano n’omusiguze.

Omukyala aswadde era asabye bba ekisonyiwo kuba abadde takisuubira nti bba ayinza okumusaanga mu loogi.

Ssemaka wakati mu kulukusa amaziga agamba nti abadde afuna amawulire nti mukyala we alina abasajja abalala kyokka abadde takisuubira nti ayinza okwenda mu kiseera kino ng’ali lubuto.

Ssemaka ng’ali mu myaka 50, atwaliddwa mu ddwaaliro nga Puleesa zirinnye kyokka alabudde mukyala we nti wadde ali lubuto, okumukwatira mu bwenzi n’omusajja omulala, kabonero akalaga nti n’omwana ali mu lubuto, ayinza okuba si mwana we.