Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okutta mukyala we bwe yagaanye okusinda omukwano akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Sam Obongo omutuuze ku kyalo Alwala mu disitulikiti y’e Lira, yakwattiddwa ku by’okutta kabiite we  Jillian Apio myaka 22.

Omusajja Obongo agamba nti yakomyewo, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yesuunga okubikula ku sseemateeka okwerigomba, kyokka omukyala Apio yabigaanye, ekyayongedde okunyiza omusajja.

Amangu ddala omusajja yakutte omukyala namutuga okutuusa lwe yafudde.

Abamu ku batuuze bagamba nti, omukyala abadde yagaana okuddamu okwegatta n’omusajja nti omusajja mwenzi, nga ayinza okumusiinga obulwadde.

Abatuuze era bagamba nti omusajja abadde yasuubiza dda okutta mukyala we, olw’okugaana akaboozi ate nga yamwanjula mu bazadde.

Enkya ya leero, Obongo olukwattiddwa, akkirizza okwenyigira mu kutta omukyala era omulambo gusangiddwa mu nnyumba.

Wabula Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga, agamba nti omusajja akwattiddwa ku misango gy’okutta mukyala we.

Obongo atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Lira ate omulambo gw’omukyala gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Lira okwekebejjebwa.

Ate waliwo ssemaka akwattiddwa ku by’okusobya ku mwana we gwe yezaalira mu disitulikiti y’e Iganga, ekirese abatuuze nga basobeddwa.

Ssemaka Manisulu Masegere myaka 50 nga mutuuze we Nakalama, yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana we myaka 9.

Masegere yafuna obutakaanya ne mukyala we ne bawukana emyaka egisukka 5, era omwana abadde abeera ne jjajjaawe.

Wabula jjajja yafiiriddwa era olw’agenze okuziika, taata yafunye amaddu kwe kudda ku mwana we, gwe yezaalira okumusobyako.

Ku kitebe kya Poliisi e Iganga, akkirizza okusobya ku mwana we era agamba nti sitaani yamukemye nga omwana ku myaka 9 yamulabye ng’ali mu myaka 30.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East agamba nti wadde Taata akwattiddwa nga n’omwana agiddwako sitetimenti, okunoonyereza kutandikiddewo.

Mubi mu ngeri y’emu agamba nti kiswaza, taata alina okukuuma omwana we ate okumusobyako. Agamba nti Poliisi essaawa yonna erina okutwala Masegere mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.