Poliisi ekutte munnayuganda eyakulemberamu okuwudiisa eggwanga nti ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni nti afudde nga kivudde ku Covid-19 okumulumba, ate abalala nga bagamba nti ali mu mbeera mbi.
Amawulire gaali gatambuzibwa ku mikutu migatta bantu okuva omwezi oguwedde Ogwomukaaga, era abamu bategeeza nti Museveni yatwalibwa mu ggwanga erya Germany ng’ali mu mbeera mbi.
Sabiiti ewedde, Museveni bwe yabadde ku kisaawe e Kololo ku mikolo gy’okulayiza baminisita abaali basigaddeyo, yagambye nti essaawa okulwanyisa abantu bonna, abegumbulidde okutambuza amawulire ag’obulimba.
Museveni yalangiridde okweyambisa ebitongola ebikuuma ddembe okunoonya abantu bonna, nga tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso, “Another problem we need to solve is fake news, especially on social media. the social media has apparently been saying Museveni is dead. The Security service needs to apprehend the perpetrators who told such a story“.

Kati no, Poliisi ekutte Peter Ssekyondwa myaka 25 nga mutuuze ku kyalo Makulubita mu ggoombolola y’e Kamira mu disitulikiti y’e Luweero ku misango gy’okweyambisa Kompyuta mu ngeri emenya amateeka.
Poliisi egamba nti Ssekyondwa, yeyakulemberamu okufulumya amawulire nti Museveni afudde n’okusanyuka ku mikutu migatta, ekyayongera okutiisa eggwanga.

Wabula omwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango Charles Twine agamba nti Ssekyondwa, ali ne banne babiri (2) abaludde nga batambuza amawulire ag’obulimba n’okubika abantu.
Twine agamba nti okubika Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni, Ssaabasajja Kabaka, Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ate nga bonna balamu ddala, kabonero akalaga nti abantu abo, bayinza kuba basezi.
Ate Poliisi eriko abantu bekutte abaludde nga batigomya abatuuze ne batwala ebintu byabwe mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Abakwattiddwa, batuuze b’e Ndejje mu Konsituwense y’e Makindye Ssabagabo ku misango gy’okumenya amayumba buli kiro ne batwala ebintu.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire, abakwate kuliko Ssempijja John ne Konde Patrick era basobodde okulemberamu Poliisi okuzuula omuli Ttiivi, amassimu, Kompyuta, emmotoka n’ebirala.

Owoyesigyire agamba nti abatuuze baludde nga basaba Poliisi okuyamba ku bubbi obweyongedde mu kitundu kyabwe.
Agamba nti wadde babiri bakwattiddwa, abalala baliira ku nsiko kyokka ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okunoonyereza n’omuyiggo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/318190536635437