Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze mu Katale k’e Nakawa, omu ku basuubuzi bw’asangiddwa ng’afiriidde mu dduuka lye, enkya ya leero.
Nakyanzi Hadijjah myaka 55, abadde mutuuze we Salaama, mu Divizoni y’e Makindye , asangiddwa nga z’embuyaga ezikunta newankubadde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abasuubuzi bagamba nti yabadde mulamu ddala.

Nakyanzi abadde alina akadduuka ng’atunda ebintu eby’enjawulo omuli sukaali, omunnyo, buto, nnyanya, Butungulu ssaako n’ebintu ebirala.
Wabula abasuuzi bagamba nti embeera embi gye basulamu, eyinza okuba eviiriddeko Nanyanzi okufa omuli empewo okubafuuwa, ettaka okubanyiga embiriizi ssaako n’ensiri okubaluma.

Ssentebe wa Katale Mudhasi Joseph agamba nti yewunyiza okusaanga Nakyanzi ng’afudde enkya ya leero.
Agamba nti abasuubuzi bali mu mbeera mbi omuli ebirowoozo by’okunoonya ensimbi, embeera embi gye basulamu ate ng’emirimu tegitambula bulungi.
Ate Meeya we Nakawa munna NUP Paul Mugambe azudde okusoomozebwa abasuubuzi kwe bayitamu nga waliwo, abatafuna butimba bwa nsiri, bangi ku basuubuzi balwadde kyokka balina okusomoozebwa okunoonya engeri y’okutuuka malwaliro.
Meeya Mugambe awanjagidde Gavumenti okulowooza ku ky’okusindika abasawo mu butale nga Nakawa, okusobola okutaasa abantu okufa.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Ate abakyala abasula mu Katale e Nakasero, bawanjagidde Gavumenti ebbajjukire mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Bano, bagamba nti Gavumenti yasuubiza ebiveera ebiyinza okubataasa ku nkuba, naye buli nkuba lw’etonnya ebintu bitoba omuli engoye zaabwe ssaako n’abo okutoba.
Abasuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Mukiibi Richard, bagamba nti embeera y’enkuba eyongedde okubanyigiriza.
Ate mu Katale ka St Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino, abasuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Susan Kushaba, bagamba nti newankubadde Gavumenti yasobola okubasindikira obutimba bw’ensiri, bangi ku basuubuzi abasula mu katale bafikira.
Ssentebe Kushaba era agamba nti n’abo betaaga ku ssente, 100,000, Gavumenti zeeri mu kusindikira abantu nga betaaga eky’okulya ate ng’abaguzi tebalabika.
Ku nsonga y’obutimba bw’ensiri, omwogezi wa Minisitule y’ebyobulamu Emmanuel Ainebyoona agamba nti Minisitule, ekwataganyeeko n’abakulembeze mu butale, okulaba engeri y’okuyamba abasuubuzi abetaaga obutimba bw’ensiri.