Kkooti eriko ssemaka ne mukyala we, abasibiddwa emyaka esatu (3) ku misango gy’okusibira omwana mu firiigi okumala ebbanga lya myezi munaana (8) mu ggwanga erya Nigeria mu bitundu bye Sokoto.
Ssemaka Emmanuel Bassey ne mukyala we Esther, wadde basibiddwa emyaka 3 era basabiddwa ne ssente 275,000 eze Nigeria.

Omwana ku myaka 12, abadde asiiba njala ng’emmere agirya omulundi gumu olunnaku, bamuteeka mu firiigi ebbanga lyonna okugyako ng’agenda kulya oba mukabuyonjo.
Mu kkooti, abazadde bagambye nti omwana aliko obuzibu ku mutwe nga baali batekeddwa okumusibira mu firiigi, olw’okumutaasa okufuna obuzibu ssaako n’okwonoona ebintu.

Wabula oludda oluwaabi, lugamba nti abazadde balimba, omwana taliko wadde obuzibu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sokoto, ASP Sanusi Abubakar, omwana yali yateekebwa mu firiigi nga yafa mu Kompawundi nga gy’alina okusiiba n’okusula.
Ate okudda wano mu ggwanga Uganda, kyaddaki Poliisi ekutte maama Akiteng Hellen ku misango gy’okutunda omwana we myezi mwenda (9) ku basawo b’ekinnansi, okusaddakibwa.
Embeera eno yabadde ku kyalo Busoke mu disitulikiti y’e Mukono.
Omwana yattiddwa era ekiwuduwudu kyasangiddwa mu Kabuyonjo, ekyalese abatuuze nga bayongobedde.
Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte abasawo b’ekinnansi basatu omuli Ssemujju Ronald, Kizito Alex ne Fred ku misango gy’okutta omuntu.
Maama yabadde asuubiza okutunda abaana ababiri ku ssente miriyoni 2,500,000 wabula yawereddwako 100,000 kwe kuwaayo omwana omu, eyasaddakiddwa.
Wabula omwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango Charles Twine agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyaviiriddeko maama okutunda omwana we okusaddakibwa, kukyagenda mu maaso.
Abakwate bonna baguddwako emisango gy’obutemu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901