Omuvubuka omuzukkulu wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Jamir Ssekyondwa myaka 23 asindikiddwa ku limanda ku misango gy’okulanga, nti Pulezidenti Museveni afudde ssaako n’okulaga nti ali mu ssanyu.

Omuzukkulu Ssekyondwa nga mutuuze we Kamira mu disitulikiti y’e Luweero, asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Luweero Samuel Munobe ku misango gy’okweyambisa kompyuta mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 5, omwezi guno Ogwomusanvu, 2021, Ssekyondwa yasobola okweyambisa essimu 0707262431 okusindika mesegi ku ssimu endala 0757453373, nti Museveni afudde, ekintu eky’obulimba.

Ssekyondwa

Mu kkooti, Ssekyondwa yegaanye emisango gyonna era asabye omulamuzi okweyimirirwa nga mu kaduukulu ka Poliisi, amazeeyo ebbanga lya sabiiti namba ate ng’alina omukyala n’omwana balina okulabirira.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peace Bashabe, luwakanyisa okusaba kwe nga bagamba nti Ssekyondwa akyapangisa singa ayimbulwa, ayinza okusenguka.

Mungeri y’emu agambye nti bakomekereza okunoonyereza nga tewali nsonga yonna lwaki ayimbulwa.

Omulamuzi akiriziganyiza n’oludda oluwaabi era Ssekyondwa asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 13, omwezi ogujja Ogwomunaana, 2021.

Mungeri y’emu aziddwa mu kaduukulu ka Poliisi okutuusa nga bakoze entekateeka okusindikibwa mu kkomera e Kitalya.

Pulezidenti Museveni agamba nti bangi ku bavubuka mu ggwanga bazukkulu be era Ssekyondwa okusindikibwa ku limanda, kiraga nti Omuzukkulu we aguddwako emisango emikambwe era ateekeddwa okwewozaako.

Ate Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alonze Beti Namisango Kamya ku bwa Kaliisoliiso bwa Gavumenti (Inspector General of Government).

Museveni asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza nti Beti Kamya agenda kumyukibwa Anne Muhairwe, “ By the Powers given to me under Article 223(4) of the Constitution of the Republic of Uganda, I hereby, appoint:

  1. Inspector General of Government – Beti Namisango Kamya
  2. Deputy Inspector of Government – Anne Muhairwe
Beti Kamya

Mungeri y’emu alonze Lucy Nakyobe Mbonye okulira ensonga z’abakozi era omuwandiisi wa Kabinenti ate Jane Barekye ng’akulira eby’emirimu mu maka g’obwa Pulezidenti, “By virtue of the Powers given to me under Article 174 (2) of the 1995 Constitution of the Republic of Uganda, I hereby, appoint Ms. Lucy Nakyobe Mbonye as theHead of Public Service and Secretary to Cabinet. I also appoint Ms. Jane Barekye as the State House Comptroller“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901