Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku Pasita Jimi Odunayo myaka 72 owa Cherubim and Seraphim Church ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 13 mu bitundu bye Monatan e Ibadan mu ssaza lye Oyo mu ggwanga erya Nigeria.

Okusinzira ku Kaminsona wa Poliisi mu ssaza lye Oyo, Mrs Ngozi Onadeko agamba nti Pasita abadde aludde ng’asobya ku mwana.

Onadeko agamba nti Pasita Odunayo abadde ayingira mu kisenge ky’omwana okulaba ttiivi era abadde aweebwa ekitiibwa ng’omuntu omukulu ate nga Pasita wabula abadde akozesa omukisa ogwo, okusobya ku mwana.

Mu sitetimenti ku Poliisi, omwana agamba nti Pasita yatandika okumukoseza mu 2019.

Pasita abadde abeera ne bazadde b’omwana era abadde amusobyako mu kiseera ng’abazadde bagenze ku mirimu.

Pasita abadde yakasobya ku mwana emirundi egisukka 4 era omwana abadde ategezaako abazadde, nga balowooza ali mu katemba.

Pasita ng’ali ku Poliisi, akirizza okusobya ku mwana era fayiro y’omusango gwe yasindikiddwa ku Poliisi enoonyereza ku misango e Iyaganku, Ibadan.

Mungeri y’emu Poliisi esobodde okulaga eggwanga omusajja Remi Oladiti myaka 56 agamba nti ye munnamateeka w’omwana myaka 14 eyasobezeddwako.

Omwana ku myaka 14, yakebeddwa abasawo era kyazuuliddwa nti ali lubuto ku myaka emito.

Poliisi egamba nti Oladiti yasangiriza omwana bwe yabadde atambula, kwe kumuwa eby’okunywa ebigambibwa nti byabaddemu kalifoomu.

Omwana oluvanyuma lw’okunywa, yavudde mu mbeera era yazirise, ekyawadde omukisa omusajja Oladiti okusobya ku mwana omuto.

Poliisi egamba nti omwana yagenda okudda engulu ng’ali mu buliri bwa Remi Oladiti nga yenna ali bwereere era yali avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama.

Alipoota y’abasawo eraga nti omwana yabadde lubuto lwa wiiki 29 n’olunnaku lumu.

Wabula Oladiti agamba nti omwana yamutegeeza nti yali myaka 18 era yamutwala okunyumya akaboozi ng’omuntu omukulu.

Poliisi egamba nti okusobya ku baana kweyongedde mu bitundu bye Oyo, nga kivudde ku basajja abamu okugwamu ensa.

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti emisango gyonna egy’okusobya ku baana mu bitundu bye Oyo, gigenda kunoonyerezebwako era abasajja balina okutwalibwa mu kkooti mu bwangu ddala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/179452594168400