Poliisi y’e Nabingo ekutte abantu 14 abasangiddwa nga batambulira mu kimotoka ekitambuza ebyamaguzi ekika kya Isuzu nnamba UBJ 803P nga besibidde mmunda.

Emmotoka ekwattiddwa

Poliisi egamba nti, esobodde okweyambisa kkamera zaayo eziri ku nguudo okulaba ekimotoka ekitambuza abantu.

Abakwattiddwa

Nga batuuse ku Poliisi bagambye nti, wadde basangiddwa mu kimotoka, ddereeva abadde abatwala Mpigi, Masaka ne Mbarara nga basabiddwa ssente wakati 50,000 – 100,000.

Ddereeva akwattiddwa

Abakwate omuli abasajja n’abakyala basangiddwa n’ebintu byabwe omuli emifaaliso, engoye, ebidomola ng’embeera yonna, eraga nti bakooye ekibuga balina kudda mu byalo.

Abakwate nga bagibwa mu mmotoka

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate bali ku Poliisi y’e Nsangi era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ababbi, abatambulira ku Pikipiki ne Bodaboda beyongedde mu bitundu bya Kampala n’emirirwano, nga bangi ku Bannakampala bali mu maziga, olw’okutwalibwako ebintu byabwe.

Ababbi, banyakula ensawo z’abakyala abakeera okutambuza emirimu gyabwe ssaako n’akawungeezi nga banyuse nga batambula okudda awaka, okunyakula amassimu, amasaawa, okubba abakeera ku dduyiro.

Mu kunoonyereza kwa Poliisi, waliwo abatambulira ku Pikipiki akawungeezi nga banoonya bantu ba kubba era mu ngeri eyo, mwe bayitidde okubba omulamuzi Gladys Kamasanyu eyabadde agenda ku ssomero lya Greenhill Academy e Kibuli okuggyayo empapula z’omwana we ebya PLE ebyafulumiziddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano sabiiti ewedde nga 16, July, 2021 ne batwala ensawo ye, amassimu ge, ebiwandiiko bye ebitamanyiddwa ate nga ye asigadde akubiddwa.

Omulamuzi Kamasanyu yatwaliddwa mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) e Muyenga ng’ali mu mbeera mbi.

Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti okunoonyereza ku babbi abatambulira ku Pikipiki kweyongedde.

Ate mungeri y’okulwanyisa ababbi abeyongedde mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo, Poliisi ekutte abasukka 10, bakkondo, abasinzira mu bitundu eby’enjawulo, okutigomya abatambuze ssaako n’abatuuze mu bitundu bye Kololo, Naguru, Nakawa, Kamwokya n’ebitundu ebirala.

Mungeri y’emu Poliisi erabudde abazadde okwegendereza abantu ssekinoomu, abeyongedde okuvaayo nga basuubiza okuwa abaana baabwe bbasale, okubakwasizaako mu kutambuza emisomo gyabwe.

Poliisi egamba nti abafere beyongedde nga berimbise mu bbasale ate abaana bangi bakwattiddwa batikiddwa ebintu omuli enjaga nga bagezaako, okubatwala mu nsi z’ebweru nga basuubiziddwa okusoma.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango Charles Twine, n’okusobya ku baana kweyongedde nga basuubiziddwa bbasale ez’empewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/502181260844844

Bya Nalule Aminah