Omuwala agambibwa okuba omuyimbi, awuninkiriza abantu bw’akirizza omukozi wa ttiivi okulingiza ku bitundu by’ekyama.

Basereebu mu nsi yonna n’okusingira ddala abakyala begumbulidde okwesamba okwambala obuwale bwomunda nga bagamba nti bubalemesa okweyagala.

Abamu bagamba nti empale zaava ku mulembe nga zaali za bakadde nga balina okuwa omukisa ebitundu byabwe eby’ekyama omukisa okufuna empewo ennungi.

Kati omuyimbi yabadde ku ttiivi kyokka abamu ku bakozi baamulemeddeko annyonnyole lwaki tayagala kwambala mpale.
Wabula mu kwewozaako, omuyimbi yagambye nti tayinza kutambula nga tayambadde mpale.

Omuyimbi, yakkiriza omukozi ku TV okulingiza kuba y’engeri yokka eyinza okuyamba, abantu okutegeera nti ddala abadde ayambadde empale kyokka omusajja wadde yabadde ku Ttiivi, yalaze kye bayita amaddu.

Vidiyo

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/07/222088442_550746205962088_803251432367410632_n.mp4

kkooti mu ggwanga erya South Africa eyongezaayo okuwuliriza emisango gya Jacob Zuma egy’okulya enguzi okutuusa nga 10, August, 2021.
Zuma myaka 79 eyali Pulezidenti wa South Africa okuva mu 2009 – 2018 yatwalibwa mu kkomera ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwomusanvu.
Kkooti ya Ssemateeka ekulemberwa Omulamuzi Sisi Virginia Khampepe yasalidde Zuma okusibwa emyezi 15 ng’emulanga okuyisa olugaayu mu kakiiko akanoonyereza ku balyake mu South Africa, akakulirwa Amyuka Ssaabalamuzi Raymond Zondo nga 29, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021.
Wabula Zuma wadde yabadde alemeddeko obutasibwa, yapondoose neyewaayo eri ekitongole eky’amakkomera.

Zuma mu kkooti

Wabula bw’asimbiddwa mu kkooti ng’asinzira mu kkomera ku nkola ya Vidiyo, Zuma asabye kkooti omusango okwongezebwaayo olw’ekirwadde ki Covid-19 n’okwekalakaasa kwa bannansi nga bawakanya eky’okumusiba.

Ate omukulu wa Poliisi mu ggwanga erya Mozambique Bernardino Rafael aweze abantu babuligyo omuli abayimbi ne bannakatemba okuddamu okwambala Yunifoomu ya Poliisi.
Rafael agamba nti abantu babadde basukkiridde okweyambisa Yunifoomu ya Poliisi mu ngeri ewebuula ekitongole kya Poliisi.
Wabula abamu ku bayimbi ne bannakatemba omuli Aranica Pagere bagamba nti Rafae asukkiridde okweyisa mu ngeri ya nnakyemalira.

Munnamateeka Osvanildo Mathe agamba nti omukulu wa Poliisi talina buyinza okuyisa ekiragiro bwekityo kuba omuntu yenna okweyambisa Yunifoomu ya Poliisi ku siteegi simusango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/502181260844844