Mu kiseera nga bannayuganda banoonya eky’okulya olw’omuggalo gwa Covid-19, nate Palamenti ewadde buli mubaka ssente okwegulira emmotoka kapyata.
Palamenti mulimu ababaka 529 era buli mubaka aweereddwa ssente obukadde 200 ate mulimu abantu 26 nga Baminisita nga si bakiise ba Palamenti n’abo bawereddwa ssente ezo.
Mungeri y’emu sipiika wa Palamenti, omumyuka we ssaako ne Bakaminsona buli omu wakufuna emmotoka empya ey’okutambuza emirimu.

Emmotoka Kapyata

Wadde buli mubaka aweereddwa ssente obukadde 200, buli mubaka waddembe okuzikolamu kyayagala omuli okwegulira emmotoka, okuzigaba, okuzimba ennyumba oba okuziwa abalonzi mu kitundu kye.
Ate amyuka sipiika wa Palamenti Anitah Among asobodde okutegeeza Palamenti akawungeezi ka leero nga Polof Patrick Engeu Ogwang, basobodde okuwa Palamenti ddoozi ly’eddagala lya Covidex 500 eri Palamenti y’eggwanga.

Polof Ogwang ye munnayuganda eyavumbula eddagala lya Covidex eriyambako mu kuweweeza Covid-19.

Ate Nampala wa gavumenti mu palamenti Hon. Thomas Tayebwa ategeezeza nti ababaka bonna ab’ekibiina kya NRM balina okufuna akawunti ku mutimbagano okuli Facebook, Twitter n’emirala kibasobozese okulaga ebyo gavumenti byekoze eri ensi okusobola okwewala amawulire amakyamu agatambuzibwa okukyayisa gavumenti.

Hon. Thomas Tayebwa

Ku Palamenti akawungeezi ka leero, Tayebwa agamba nti abavubuka bangi bali ku mitimbagano ate bebasinga obungi mu ggwanga, nga balina okweyambisa emitimbagano okubatusaako amawulire.

Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako  Dr. Moriku Joyce Kaducu awakanyizza  enteekateeka ey’okuwandiisa abayizi  abayingira mu S.1 nga bayita ku mutimbagano.

Dr. Kaducu agamba kino tekisoboka kuba essaawa eno amasomero gakyali ku muggalo nga kino tekisoboka.

Dr. Moriku Joyce Kaducu

Okuva ebigezo bya P.7  lw’ebyafuluma wiiki ewedde ku Lwokutaano nga 16, July, 2021, amasomero mangi gabadde gayita abayizi okwewandiisa  mu S.1 nga bakozesa omutimbagano.

Wabula Minisita Kaducu agamba nti mu kiseera kino amasomero gonna maggale era tewali ssomero lyonna liteekeddwa kuwandiisa baana.

Ate ekitebe kya Uganda mu Japan nga kiri wamu n’abebyokwerinda bikola butaweera okulaba ng’olwaleero kizza ku butaka munnayuganda Julius Ssekitoleko eyali abulidde mu ggwanga eryo wabula oluvanyuma nazuulibwa ku Mmande ya wiiki eno.

Julius Ssekitoleko

Ssekitoleko yabula okuva mu wooteeri mweyali asula nga kigambibwa nti yalekawo okutekateeka okumuzza awaka.
Wabula agava e Japan galaga nti Ssekitoleko agamba nti tayagala kudda mu Uganda kuba embeera mbi, ayagala kusigala mu Japan okusobola okukola ennyo okukyusa obulamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/499883351078288